Buuka ogende ku bubaka obulimu

Enkuŋŋaana z’Ekibiina ez’Abajulirwa ba Yakuwa

Manya ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe. Noonya ekifo ekikuli okumpi awabeera enkuŋŋaana zaffe.

Noonya Ekifo Ekikuli Okumpi (opens new window)

Biki Ebibeera mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana emirundi ebiri buli wiiki okusinza Katonda. (Abebbulaniya 10:24, 25) Mu nkuŋŋaana ezo twekenneenya Bayibuli by’eyigiriza era n’engeri gye bituyamba mu bulamu bwaffe, era buli muntu wa ddembe okuzibeeramu.

Mu nkuŋŋaana zaffe ezisinga mubaamu okukubaganya ebirowoozo. Zitandika era ne zikomekkerezebwa n’oluyimba n’okusaba.

Ne bw’oba toli Mujulirwa wa Yakuwa osobola okubeerawo mu nkuŋŋaana zaffe. Twaniriza abantu bonna okuzibeeramu. Okuyingira kwa bwereere era teri kusolooza ssente.