Buuka ogende ku bubaka obulimu

Olugendo Olwabatuusa ku Mugga Oguyitibwa Maroni

Olugendo Olwabatuusa ku Mugga Oguyitibwa Maroni

 Mu kibira ekiyitibwa Amazon ekiri mu South America, osangamu abantu ab’amawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo. Mu Jjulaayi wa 2017, Abajulirwa ba Yakuwa 13 baatindigga olugendo olwabatuusa ku Mugga Maroni oguli mu French Guiana. Ekigendererwa kyabwe kyali kya kutwalira abantu ababeera okumpi n’omugga ogwo amawulire amalungi agali mu Bayibuli.

Okweteekerateekera Olugendo

 Ng’ebulayo omwezi gumu olugendo olwo olwali lugenda okutwala ennaku 12 lutuuke, abo bonna abaali bagenda okulwetabamu baaliwo mu lukuŋŋaana olw’okweteekateeka. Winsley agamba nti: “Twayogera ku bikwata ku kitundu ekyo, ebyafaayo byakyo, era n’engeri y’okweteekerateekeramu olugendo.” Buli omu yaweebwa ekintu ekitayitamu mazzi eky’okusituliramu eky’okwebakako, n’akatimba k’ensiri. Olugendo lwali luzingiramu okulinnya ennyonyi za mirundi ebiri, n’okusaabalira mu bwato obutono okumala essaawa eziwera.

Claude ne Lisette

 Abo abaalondebwa okugenda, baawulira batya? Claude ne Lisette, abatemera mu myaka 60 egy’obukulu bakkiriza mangu. Claude agamba nti: “Nnasanyuka nnyo. Naye mu kiseera kye kimu nnawulira nga ntiddemu. Nnali nnawulirako nti omugga ogwo gukulukutira ku sipiidi era nti guliko amayengo ag’amaanyi.” Ate ye Lisette yalina ekirala ekyali kimweraliikiriza. Agamba nti: “Nneebuuza obanga nnandisobodde okwogera ennimi ezoogerwa mu kitundu ekyo.”

 Mickaël naye yali yeeraliikirira ekintu kye kimu. Agamba nti: “Twali tetumanyi bingi bikwata ku ggwanga eriyitibwa Wayana. Bwe kityo nnanoonyereza ku Intaneeti ne njiga ebigambo ebitonotono mu lulimi olwo, n’engeri gye babuuzaamu.”

 Shirley, n’omwami we Johann, baawandiika ennimi ezoogerwa mu kitundu ekyo. Shirley agamba nti: “Twawanula vidiyo ku jw.org mu nnimi ezoogerwa mu kitundu ekyo, era ne tufuna n’akatabo akali mu Luwayana.”

Batuuka mu Kitundu Ekyo

 Ku Lwokubiri, nga Jjulaayi 4, ababuulizi abo baalinnya ennyonyi mu Saint-Laurent du Maroni eyabatuusa mu kabuga akatono akayitibwa Maripasoula, akali mu French Guiana.

 Mu nnaku ennya ezaddirira, ababuulizi abo baasaabalira mu bwato obuyitibwa pirogues ne batuuka ku bantu abaali mu bitundu ebiriraanye Omugga Maroni. Omu ku babuulizi ayitibwa Roland agamba nti: “Abantu b’omu kitundu ekyo baali baagala nnyo okumanya ebikwata ku Katonda. Baatubuuza ebibuuzo bingi, era abamu ku bo baali baagala okuyigirizibwa Bayibuli.”

 Ku kyalo ekimu, Johann ne Shirley baasanga abafumbo ababagamba nti omu ku b’eŋŋanda zaabwe yali yaaketta. Johann agamba nti: “Twabalaga vidiyo erina omutwe, A Native American Finds His Creator. a Ebyo bye baalaba mu vidiyo byabakwatako nnyo. Baatuwa e-mail yaabwe kubanga baali baagala okweyongera okuwuliziganya naffe.”

 Ekitundu ekisingayo okuba eky’ewala kye baatuukamu kiyitibwa Antécume Pata. Bwe baatuukayo, omwami w’ekyalo yabakkiriza okusula mu kifo eky’olukale abantu abalala we basula. Ate era baanaabira mu mugga ng’abantu abalala ab’oku kyalo.

 Bwe baavaayo, beeyongerayo mu kyalo ekiyitibwa Twenké, gye baasanga abaali bafiiriddwa omuntu waabwe. Éric, omu ku baateekateeka olugendo olwo agamba nti: “Omwami w’ekyalo ekyo yatukkiriza okutambula mu kyalo ekyo tubudeebude abantu abaali bafiiriddwa. Omwami oyo n’ab’omu maka ge baasiima nnyo ebyawandiikibwa bye twabasomera okuva mu Bayibuli y’Oluwayana. Era twabalaga ne vidiyo ezoogera ku ssuubi ly’okuzuukira.”

Beeyongerayo e Grand-Santi n’e Apatou

 Bwe baava eyo, baalinnya ennyonyi eyabaggya e Maripasoula n’ebatuusa e Grand-Santi, era olugendo olwo lwabatwalira eddakiika 30. Ku Lwokubiri ne ku Lwokusatu, baabuulira abantu b’omu kitundu ekyo obubaka obuli mu Bayibuli. Ku Lwokuna, ababuulizi abo baasaabala ku Mugga Maroni, olugendo lwa ssaawa ttaano n’ekitundu, ne batuuka mu kyalo ekiyitibwa Apatou.

Omugga Maroni n’ekibira kya Amazon ebiri wakati wa Maripasoula ne Grand-Santi

 Ku lunaku olwaddirira olusembayo, ababuulizi abo baabuulira mu byalo by’abantu abayitibwa Abamaruuni, abaasibuka mu baddu abaggibwa mu Afirika ne batwalibwa mu South America, mu kiseera ng’eggwanga lya Suriname ery’oku muliraano likyafugibwa abafuzi b’amatwale. Ababuulizi abo baasimba weema ennene mu kibira ne bayita abantu okubaawo ku lukuŋŋaana. Claude agamba nti: “Twawulira essanyu lingi bwe twalaba ng’abantu bangi bazze. Twali tubayise ku makya g’olunaku olwo lwennyini.” Karsten, eyali agenze okubuulira mu kitundu ekyo omulundi gwe ogusooka, yayogera eri abantu mu lulimi oluyitibwa Aukan, ku mutwe ogugamba nti: “Buno Bwe Bulamu Bwokka Obuliyo?” Abantu 91 okuva mu byalo ebiwerako be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo.

“Tuli Beetegefu Okuddayo!”

 Oluvannyuma, ababuulizi abo baddayo e Saint-Laurent du Maroni. Bonna baakwatibwako nnyo olw’engeri abantu b’omu kitundu ekyo gye baabawulirizaamu. Baabawa ebitabo bingi era baabalaga vidiyo eziwerako ezifulumizibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

 Lisette agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnagenda ku lugendo olwo.” Cindy naye agamba nti: “Singa nfuna omukisa omulala, ndi mwetegefu okuddayo. Tosobola kutegeera ssanyu lyennyini lye twafuna, okuggyako nga ggwe kennyini weetuukiddeyo!”

 Essanyu ababuulizi abo lye baafuna lyaleetera abamu ku bo okwagala okuddayo. Mickaël agamba nti: “Tuli beetegefu okuddayo!” Winsley yasenguka n’adda e Saint-Laurent du Maroni. Ate Claude ne Lisette, nga bombi batemera mu myaka 60 egy’obukulu, baasalawo okusenguka ne badda mu Apatou.

a Eri ku JW Broadcasting.