Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Kikkirizibwa Okuba n’Abakazi oba Abasajja Abasukka mu Omu?

Ddala Kikkirizibwa Okuba n’Abakazi oba Abasajja Abasukka mu Omu?

Bayibuli ky’egamba

 Okumala ekiseera, Katonda yakkiriza abasajja okuba n’abakazi abasukka mu omu. (Olubereberye 4:19; 16:1-4; 29:18-29) Naye Katonda si ye yatandikawo enkola eyo. Katonda bwe yatonda Adamu yamuwa omukazi omu yekka.

 Okuyitira mu Yesu, Katonda yakiraga nti omusajja alina kuba na mukazi omu era n’omukazi alina kuba na musajja omu. (Yokaana 8:28) Bwe yabuuzibwa ebikwata ku bufumbo, Yesu yagamba nti: “Oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi era n’agamba nti: ‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era ababiri abo banaabanga omubiri gumu.’”—Matayo 19:4, 5.

 Omu ku bayigirizwa ba Yesu oluvannyuma yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Buli musajja abeere ne mukyala we, n’omukazi abeere n’omwami we.” (1 Abakkolinso 7:2) Bayibuli era egamba nti omusajja yenna bw’aba ow’okuweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kibiina Ekikristaayo, aba alina okuba “n’omukazi omu.”—1 Timoseewo 3:2, 12.