Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Abantu Tebasobola Kuleeta Mirembe gya Nnamaddala?

Lwaki Abantu Tebasobola Kuleeta Mirembe gya Nnamaddala?

Bayibuli ky’egamba

 Abantu balemereddwa okuleetawo emirembe era tebajja kusobola kuleeta mirembe gya nnamaddala. Lwaki?

  •   “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.” (Yeremiya 10:23) Abantu tebaatondebwa na busobozi bwa kwefuga bokka, n’olwekyo tebasobola kuleeta mirembe gya nnamaddala.

  •   “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola. Omukka gwe gumuvaamu, n’addayo mu ttaka; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bisaanawo.” (Zabbuli 146:3, 4) Abafuzi abantu obuntu, nga mw’otwalidde n’abo abalina ebigendererwa ebirungi, tebasobola kumalirawo ddala ntalo.

  •   “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba . . . bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza.” (2 Timoseewo 3:1–4) Tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” ekiseera omuli ebintu ebitasobozesa mirembe gya nnamaddala kubaawo.

  •   “Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Sitaani Omulyolyomi, omulabe wa Katonda, yasuulibwa ku nsi era aviiriddeko abantu okukola ebikolwa eby’obukambwe. Nga Sitaani akyafuga ensi eno, ensi tesobola kubaamu mirembe.—Yokaana 12:31.

  •   “[Obwakabaka bwa Katonda] bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka [obuziyiza Katonda], era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.” (Danyeri 2:44) Obwakabaka bwa Katonda, so si gavumenti z’abantu, bwe bwokka obujja okuleeta emirembe egya nnamaddala.—Zabbuli 145:16.