Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Ekkiriza Okugattululwa?

Ddala Bayibuli Ekkiriza Okugattululwa?

Bayibuli ky’egamba

 Yee, Bayibuli ekkiriza omusajja n’omukazi okugattululwa. Kyokka Yesu yakiraga nti waliwo ensonga emu yokka esobola okusinziirwako okugattulula obufumbo. Yagamba nti: “Buli agattululwa ne mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.”—Matayo 19:9, obugambo obuli wansi.

 Katonda akyawa omuntu yenna mu bukuusa asalawo okugattululwa ne munne. Ajja kubonereza abo bonna, mu bukuusa, abasalawo okugattululwa ne bannaabwe mu bufumbo, naddala abo abakikola nga balina ekigendererwa eky’okufuna omuntu omulala.—Malaki 2:13-16; Makko 10:9.