Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera ki ku Kuggyamu Embuto?

Bayibuli Eyogera ki ku Kuggyamu Embuto?

Bayibuli ky’egamba

 Wadde nga Bayibuli tekozesa bigambo “okuggyamu embuto,” ebyawandiikibwa bingi biraga engeri Katonda gy’atwalamu obulamu bw’abantu nga mw’otwalidde n’obw’omwana atannazaalibwa.

 Obulamu kirabo okuva eri Katonda. (Olubereberye 9:6; Zabbuli 36:9) Obulamu bwonna abutwala nga bwa muwendo nga mw’otwalidde n’obw’omwana ali mu lubuto. N’olwekyo, omuntu bw’atta mu bugenderevu omwana atannazaalibwa, aba akoze ekikolwa eky’obutemu.

 Erimu ku Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri lyali ligamba nti: “Abantu bwe balwananga ne balumya omukazi ow’olubuto, n’azaala nga tannatuusa, naye ne watabaawo afa, oyo anaabanga azzizza omusango ogwo anaaliwanga okusinziira ku ekyo nnannyini mukazi ky’anaabanga amusalidde; era anaakisasulanga ng’akiyisa mu balamuzi. Naye bwe wanaabangawo afudde, owangayo obulamu olw’obulamu.”—Okuva 21:22, 23. *

 Obulamu bw’omuntu butandika ddi?

 Katonda akitwala nti obulamu bw’omuntu butandika ng’omukazi yaakafuna olubuto. Mu Kigambo kye, Bayibuli, Katonda bw’aba ayogera ku mwana atannazaalibwa amwogerako ng’omuntu eyeetongodde. Lowooza ku byokulabirako ebiraga nti Katonda atwala obulamu bw’omwana ali mu lubuto okuba nga bwe bumu n’obw’omwana azaaliddwa.

  •   Ng’aluŋŋamiziddwa, Kabaka Dawudi yagamba Katonda nti: “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange.” (Zabbuli 139:16) Dawudi ne bwe yali ng’akyali mu lubuto lwa maama we, Katonda yali amutwala nga muntu wa ddala.

  •   Okugatta ku ekyo, nnabbi Yeremiya bwe yali tannaba kuzaalibwa, Katonda yali akimanyi nti yandimuwadde obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Katonda yamugamba nti: “Nnakumanya nga sinnakutonda mu lubuto lwa nnyoko, era nga tonnazaalibwa nnakutukuza. Nnakufuula nnabbi eri amawanga.”—Yeremiya 1:5.

  •   Omuwandiisi wa Bayibuli Lukka, eyali omusawo, yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani kye kimu bwe yali ayogera ku mwana atannazaalibwa era ne ku mwana eyaakazaalibwa.—Lukka 1:41; 2:12, 16.

 Katonda asobola okusonyiwa omuntu eyaggyamu olubuto?

 Abo abaggyamu embuto Katonda asobola okubasonyiwa. Bwe kiba nti kati obulamu ba butwala nga Katonda bw’abutwala, tebasaanidde kulumizibwa mutima. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa musaasizi era wa kisa . . . Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.” * (Zabbuli 103:8-12) Yakuwa ajja kusonyiwa abo bonna abeenenya ebibi byabwe mu bwesimbu, nga mw’otwalidde n’eky’okuggyamu olubuto.—Zabbuli 86:5.

 Kikyamu okuggyamu olubuto obulamu bwa maama oba obw’omwana bwe buba nga buli mu kabi?

 Okusinziira ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mwana atannazaalibwa, okuba nti obulamu bw’omukazi ali olubuto oba olw’omwana ali mu lubuto buyinza okuba mu kabi, tekiwa muntu bbeetu kuggyamu lubuto.

 Watya singa mu kiseera ky’okuzaala wajjawo embeera eyeetaagisa okusalawo wakati w’okuwonya obulamu bwa maama oba obw’omwana? Mu mbeera ng’eyo, abo abakwatibwako be balina okusalawo bulamu bw’ani bwe banaataasa.

^ lup. 3 Enkyusa za Bayibuli ezimu bwe ziba zoogera ku tteeka eryo Katonda lye yawa Abayisirayiri, zikireetera okulabika nti ensonga enkulu yaba ng’ekyo ekyatuukanga ku maama, so si ku mwana eyabanga mu lubuto. Kyokka, ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byogera ku kabenje akattanga maama oba omwana.

^ lup. 8 Yakuwa lye linnya lya Katonda nga bwe kiragibwa mu Bayibuli.—Zabbuli 83:18.