Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 5

Okusoma Obulungi

Okusoma Obulungi

1 Timoseewo 4:13

MU BUFUNZE: Soma ebyo byennyini ebiwandiikiddwa, mu ddoboozi eriwulikika.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Tegeka bulungi. Lowooza ku nsonga lwaki by’ogenda okusoma byawandiikibwa. Weegezeemu okusomera awamu ebigambo mu kifo ky’okusoma ekigambo kimu kimu. Weegendereze oleme kwongeramu bigambo, kubuuka bigambo, oba okusoma ekitaliiwo. Goberera obubonero bwonna.

  • Yatula bulungi buli kigambo. Bwe wabaawo ekigambo ky’otayatula bulungi, kinoonye mu nkuluze, wuliriza akatambi k’amaloboozi ak’ekitabo ky’osoma, oba saba omusomi omulungi akuyambe.

  • Yogera mu ngeri etegeerekeka. Yimusa omutwe, era yasamya bulungi akamwa, kikuyambe okwatula obulungi ebigambo. Fuba okwatula buli nnyingo.