ZUUKUKA Na. 4 2016 | Engeri gy’Oyinza Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula

Ebintu bye twemanyiiza okukola birina kinene kye bikola ku bulamu bwaffe.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula

Kakasa nti ebintu bye weemanyiiza okukola bikuganyula.

OMUTWE OGULI KUNGULU

1 Tosuubira Bitasoboka

Tosuubira nti ojja kweggyako emize emibi era weemanyiize okukola ebintu ebirungi omulundi gumu. Manya ebyo by’osaanidde okusooka okukolako.

OMUTWE OGULI KUNGULU

2 Weegendereze Embeera Gye Weeteekamu

Weeteeke mu mbeera ezinaakuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

OMUTWE OGULI KUNGULU

3 Tokoowa

Ne bwe kiba nti okisanze nga kizibu okweggyamu emize emibi oba okukulaakulanya ebintu ebirungi, tokoowa!

Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku Kulya Ebisiyaga?

Evumirira okulya ebisiyaga? Ekubiriza bantu okutuusa obulabe ku balyi b’ebisiyaga?

EBIYAMBA AMAKA

Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

Tetusobola kwewala nkyukakyuka. Laba engeri abamu gye basobodde okwaŋŋangamu enkyukakyuka ezijjawo mu bulamu bwabwe.

ENSI N'ABANTU

Ka Tugendeko e Kyrgyzstan

Abantu b’omu Kyrgyzstan basembeza abagenyi era bassa ekitiibwa mu balala. Biki ebikwata ku buwangwa bwabwe?

BAYIBULI KY'EGAMBA

Endabika Ennungi

Emikutu gy’eby’empuliziganya ne kampuni ezikola emisono gy’eby’okwambala gitumbula endowooza eteri nnuŋŋamu ku ndabika ennungi.

KYAJJAWO KYOKKA?

Obulamu bw’Ekika Ekimu eky’Ennyanyaagize

Ennyanyaagize eziyitibwa periodical cicada zimala emyaka egiri wakati wa 13 ne 17 mu ttaka oluvannyuma ne zirabika.