Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’

2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” —ABARUUMI 15:4.

Kye Kitegeeza

Bayibuli erimu ebintu ebibudaabuda era ebisobola okutuyamba nga tutawaanyizibwa ebirowoozo ebibi. Ate era obubaka obuli mu Bayibuli butuwa essuubi nti ekiseera kijja kutuuka obulumi bwonna bwe tufuna olw’ebirowoozo ebibi buggweewo.

Engeri Ebyawandiikibwa Gye Bituyambamu

Ffenna oluusi tuba n’ebitweraliikiriza oba ebitwennyamiza. Naye abantu abalina ekizibu ky’okwekyawa oba eky’okweraliikirira ekisusse baba n’enneewulira eyo buli lunaku. Bayibuli eyinza etya okuyamba abantu ng’abo?

  • Bayibuli erimu ebigambo ebizzaamu amaanyi omuntu by’asobola okulowoozaako ne kimuyamba obutalowooza ku bintu ebimalamu amaanyi. (Abafiripi 4:8) Okujjuza mu birowoozo byaffe obubaka obuzzaamu amaanyi obuli mu Bayibuli kituyamba okubudaabudibwa n’okutebenkera mu birowoozo.—Zabbuli 94:18, 19.

  • Bwe tuba nga tulowooza nti tetulina mugaso, Bayibuli esobola okutuyamba okuvvuunuka endowooza eyo emalamu amaanyi.—Lukka 12:6, 7.

  • Ebyawandiikibwa bingi mu Bayibuli bituyamba okukiraba nti tetuli ffekka, era nti Omutonzi waffe ategeera bulungi engeri gye twewuliramu.—Zabbuli 34:18; 1 Yokaana 3:19, 20.

  • Bayibuli egamba nti ekiseera kijja kutuuka tube nga tetukyalowooza ku bintu bituleetera bulumi. (Isaaya 65:17; Okubikkulirwa 21:4) Ekyo Bayibuli ky’esuubiza kituyamba okugumiikiriza bwe tuba nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo.