Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

Abantu Bukadde na Bukadde Baali Bamanyi Emmotoka ey’Ekizindaalo

Abantu Bukadde na Bukadde Baali Bamanyi Emmotoka ey’Ekizindaalo

“Waliwo emmotoka emu ey’ekizindaalo ekozesebwa mu mulimu gwa Mukama waffe mu Brazil, era abantu bukadde na bukadde bamanyi emmotoka eyo eyitibwa, ‘the Watch Tower sound car.’ ”​—byayogerwa Nathaniel A. Yuille, mu 1938.

KU NTANDIKWA y’emyaka gya 1930, omulimu gw’okubuulira gwali gutambula kasoobo mu Brazil. Naye mu 1935, ab’oluganda Nathaniel ne Maud Yuille abaali bapayoniya baawandiikira ow’oluganda Joseph F. Rutherford, eyali atwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa ne bamutegeeza nti baali beetegefu okuweereza mu kitundu kyonna awali obwetaavu.

Mu kiseera ekyo Nathaniel, eyali yawummula emirimu gy’okuzimba, yalina emyaka 62. Yali yaweerezaako nga dayirekita w’obuweereza mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu San Francisco, California, Amerika. Mu kibiina ekyo ye yali akola enteekateeka ez’okubuulira era yakozesanga n’ebyuma by’amaloboozi okubunyisa amawulire amalungi. Obumanyirivu bwe yalina n’omwoyo gw’okwagala okuweereza byamuyamba nnyo mu kulabirira emirimu ku ofiisi y’ettabi ey’omu Brazil, ensi omuli abantu aboogera ennimi ezitali zimu.

Mu 1936, Nathaniel ne Maud awamu n’omutaputa waabwe Antonio P. Andrade, eyali aweereza nga payoniya, baatuuka mu Brazil. Bajja ne gramufomu 35 awamu n’emmotoka ey’ekizindaalo. Brazil, ensi ekwata eky’okutaano mu bunene mu nsi yonna yalimu ababuulizi nga 60 bokka! Naye ebintu ebyo ab’oluganda bye baaleeta byali bya kuyamba ababuulizi abo okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi mu kiseera kitono.

Nga wayise omwezi gumu nga Yuille ne banne bamaze okutuuka mu Brazil, ofiisi y’ettabi yateekateeka olukuŋŋaana olunene olw’obuweereza olwasookera ddala mu Brazil, era lwali lugenda kubeera mu kibuga São Paulo. Kirabika Maud ye yavuga emmotoka ey’ekizindaalo eyagenda ng’eranga emboozi eyali egenda okuweebwa, era abantu 110 be baaliwo! Olukuŋŋaana olwo lwazzaamu nnyo ababuulizi amaanyi ne beeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Baayiga okubuulira nga bakozesa ebitabo, bukaadi, awamu ne gramufomu ezaaliko obubaka obwali mu Lungereza, mu Lugirimaani, mu Luhangale, mu Lupolisi, mu Lusipeyini, n’oluvannyuma mu Lupotugo.

Emmotoka eno ey’ekizindaalo yayamba abantu bukadde na bukadde okuwulira amawulire amalungi

Enkuŋŋaana ennene ez’obuweereza essatu ezaali mu São Paulo, mu Rio de Janeiro, ne mu Curitiba mu 1937, zaayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Ababuulizi bwe baagendanga okubuulira nnyumba ku nnyumba, ng’emmotoka ey’ekizindaalo nayo egenderako. José Maglovsky, eyali akyali omulenzi mu kiseera ekyo, yagamba nti: “Twateekanga ebitabo byaffe ku budaala era abantu bwe baafulumanga mu mayumba gaabwe nga bawulidde emmotoka y’ekizindaalo, nga tubabuulira.”

Abantu baababatirizanga mu migga era abo abaabanga bazze okuwuga baabanga awo ku bbali nga boota akasana. Ekyo kyatuwanga akakisa okubuulira nga tukozesa emmotoka ey’ekizindaalo! Abantu baawulirizanga emboozi ekwata ku kubatizibwa ey’Ow’oluganda Rutherford eyali ewulikika obulungi ku kizindaalo. Abantu baakuŋŋaananga okwetooloola emmotoka ne bawuliriza emboozi eyavvuunulwanga mu Lupotugo. Oluvannyuma, abaabanga bagenda okubatizibwa baabatizibwanga ng’eno ennyimba z’Obwakabaka ezaali mu Lupolisi bwe zikubibwa. Ab’oluganda ne bannyinaffe nabo baayimbanga mu nnimi ez’enjawulo. Akatabo Yearbook aka 1938 kaagamba nti, “Ekyo kyatujjukizanga ebyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti, buli omu bwe yawulira ebyo ebyali byogerwa mu lulimi lwe.”

Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana ezo ennene, buli lwa Ssande, k’ebe nkuba oba musana, emmotoka ey’ekizindaalo yatuusanga obubaka obwesigamiziddwa ku Bayibuli ku bantu mu ppaaka, mu mayumba, ne mu makolero agaali mu São Paulo ne mu bubuga obuliraanyeewo. Abagenge nga 3,000, abaali mu kitundu ekimu ekyali kisangibwa mayiro nga 60 ebukiikakkono bwa São Paulo baawulirizanga programu eya buli mwezi ku mmotoka ey’ekizindaalo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ekibiina kyatandiikibwawo mu kitundu ekyo. Wadde ng’embeera gye baalimu teyali nnyangu, ababuulizi abaali mu kibiina ekyo baafuna olukusa mu b’obuyinza basobole okukyalirako abagenge abalala abaali mu kitundu ekirala bababuulire amawulire amalungi okuva mu Bayibuli.

Omwaka gwa 1938 bwe gwali gunaatera okuggwaako, ekibiina kya Yakuwa kyafulumya obutambi okwali obubaka bwa Bayibuli mu Lupotugo. Ku lunaku lw’abafu emmotoka ey’ekizindaalo yatambulanga ng’eva limbo ku limbo, era ekyo kyasobozesa abakungubazi abasukka mu 40,000 okuwulira emboozi ezaalina omutwe, “Abafu Bali Ludda Wa?,” “Yakuwa,” ne “Ebyobugagga”!

Abakulembeze b’amadiini tebaasanyukira bubaka obwawulirwanga ku mmotoka ey’ekizindaalo era emirundi mingi baagambanga ab’obuyinza okuwera emmotoka eyo. Mwannyinaffe Yuille agamba nti lumu omukulembeze w’eddiini yakunga ekibiina ky’abantu okujja okukola effujjo ku mmotoka eyo. Naye meeya awamu n’abapoliisi bajja ku mmotoka ey’ekizindaalo ne bawuliriza obubaka bwa Bayibuli. Bwe baamala okuwuliriza, meeya yakkiriza okutwala ebimu ku bitabo ebyaliwo. Ku olwo tewali ffujjo lyakolebwa. Wadde ng’omwaka ogwo gwalimu okusoomooza kungi, bwe yali eyogera ku Brazil, Yearbook eya 1940 yagamba nti omwaka gwa 1939 gwe mwaka “gwe baasinga okuweererezaamu Katonda ow’amaanyi n’okumanyisa erinnya lye.”

Emmotoka ey’ekizindaalo yakola kinene nnyo mu mulimu gw’okubuulira mu Brazil. Yayamba abantu bukadde na bukadde okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Wadde ng’emmotoka eyo yatundibwa mu 1941, Abajulirwa ba Yakuwa bangi beeyongedde okutuusa amawulire amalungi ku bantu ab’emitima emirungi mu Brazil.​—Okuva mu tterekero lyaffe mu Brazil.