OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Janwali 2014

Magazini eno ewa obukakafu obulaga nti okuva edda n’edda Yakuwa abadde Kabaka. Era eyogera ne ku Bwakabaka bwa Masiya ne ku ebyo bye bukoze.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Bugwanjuba bwa Afirika

Kiki ekyakubiriza ab’oluganda ab’omu Bulaaya okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, era birungi ki ebivuddemu?

Sinza Yakuwa, Kabaka ow’Emirembe n’Emirembe

Okumanya engeri Yakuwa gy’abadde Kitaffe n’engeri gy’azze ayolekamu obuyinza bwe nga Kabaka kituleetera okwongera okumwagala.

Obwakabaka Bumaze Emyaka 100 nga Bufuga—Bintu Ki Bye Bukoze?

Tuyinza tutya okuganyulwa mu Bwakabaka? Manya engeri Yesu Kristo gy’asobodde okulongoosa, okutendeka, n’okutegeka abagoberezi be ku nsi.

Salawo mu Ngeri ey’Amagezi ng’Okyali Muvubuka

Abavubuka bangi Abakristaayo bafunye essanyu mu kuweereza abalala. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu?

Weereza Yakuwa ng’Ennaku Embi Tezinnajja

Kiki Abakristaayo abakulu kye basobola okukola okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe?

“Obwakabaka Bwo Bujje”—Naye Bunajja Ddi?

Tukakasiza ku ki nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa?

Kye Nnasalawo Okukola nga Nkyali Muto

Omulenzi omuto ow’omu Columbus, Ohio, Amerika yasalawo okuyiga Olukambodiya. Lwaki? Ekyo kyakwata kitya ku biseera bye eby’omu maaso?