Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

Yalaba Okwagala okw’Amaanyi mu Bantu ba Yakuwa

Yalaba Okwagala okw’Amaanyi mu Bantu ba Yakuwa

BWE tukuŋŋaana awamu okulya ku mmeeza ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, tufuna essanyu lingi. Ate n’okuliirako awamu emmere ne bakkiriza bannaffe ku nkuŋŋaana ennene, nakyo kyongera ku ssanyu lyaffe.

Mu Ssebutemba 1919, Abayizi ba Bayibuli baalina olukuŋŋaana mu Cedar Point, Ohio, Amerika olwamala ennaku omunaana. Wooteeri zaalina okusuza abagenyi n’okubafumbira emmere, naye abantu abajja ku lukuŋŋaana olwo baali bangi nnyo okusinga abaali basuubirwa. Olw’okuba abantu baali bangi nnyo, abaali bakola ogw’okuweereza emmere mu wooteeri baasalawo okulekawo emirimu gyabwe. Nga bimusobedde, maneja wa wooteeri eyo yasaba abavubuka abaali bazze ku lukuŋŋaana okuyambako, era bangi baasitukiramu. Sadie Green yali omu ku bavubuka abo. Agamba nti: “Nnali siweerezangako mmere mu wooteeri, naye nnanyumirwa nnyo.”

Sierra Leone, 1982

Mu myaka egyaddirira, enteekateeka zaakolebwa ab’oluganda bannakyewa okufumbiranga emmere abo abaabanga ku nkuŋŋaana ennene. Okuba nti ab’oluganda baakoleranga wamu, kyayamba abavubuka bangi okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Gladys Bolton yayambako mu kufumba emmere ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1937. Agamba nti: “Nnakolerako wamu n’ab’oluganda okuva mu bitundu ebitali bimu era ne bambuulira ku bizibu bye baali boolekagana nabyo n’engeri gye baali babyaŋŋangamu. Mu kiseera ekyo, nnatandika okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya.”

Beulah Covey yagamba nti: “Obumalirivu ab’oluganda abaakolanga ogw’okufumba bwe baalina bwayamba emirimu okutambula obulungi.” Kyokka omulimu ogwo gwalimu okusoomooza okutali kumu. Angelo Manera bwe yatuuka ku kisaawe ky’e Dodger eky’omu Los Angeles, California, awaali wagenda okuba olukuŋŋaana olunene mu 1969, baamutegeeza nti ye yali agenda okukulira abafumbi. Yagamba nti: “Nnatya nnyo!” Okusobola okuteekateeka aw’okufumbira, ab’oluganda baalina okusima omukutu gwa mita nga 400, okuyisaamu payipu za gaasi ow’okufumbisa!

Frankfurt, Bugirimaani, 1951

Mu 1982, ab’oluganda mu Sierra Leone baasooka kusaawa kisiko ne bazimba effumbiro nga bakozesa ebizimbisibwa ebyali bisobola okufunika. Mu 1951 ab’oluganda mu Frankfurt, Bugirimaani baapangisa ekimotoka kya gaasi eyakozebwa ku ntamu 40 ze baafumbiramu. Ab’oluganda baagabulanga abantu 30,000 buli ssaawa. Okusobola okuwewula ku mirimu gya bannakyewa 576 abaali bakola ogw’okwoza ebintu, ab’oluganda beereteranga obwambe awamu ne wuma eby’okuliisa. Mu kibuga Yangon eky’omu Myanmar, ab’oluganda abaakola ogw’okufumba baateeka kaamulali mutonoko mu mmere eyali egenda okugabulwa ab’oluganda abaali bavudde mu nsi endala.

“BALYA BAYIMIRIDDE”

Ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Amerika mu 1950, Annie Poggensee yali asimbye mu lunyiriri okufuna emmere era ng’akasana kaaka nnyo. Yagamba nti: “Nnawuliriza emboozi eyali wakati wa baganda bange babiri abaali bazze ku lukuŋŋaana nga bavudde mu nsi za Bulaaya nga bakozesa eryato.” Buli omu ku bo yayogera ku ngeri Yakuwa gye yali amuyambyemu n’asobola okubaawo ku lukuŋŋaana. Annie agattako nti: “Bombi baali basanyufu nnyo. N’omusana ogwali gwaka ennyo tebaaguwulira.” Ekyo Annie kyamukwatako nnyo.

Seoul, Korea, 1963

Ku nkuŋŋaana ennene, ab’oluganda baasimbanga weema ennene era ne bateekamu emmeeza empanvu okusobozesa ab’oluganda okulya amangu oluvannyuma n’abalala basobole okulya. Enkola eyo yali nnungi nnyo. Ekyo omusajja omu ataali Mujulirwa wa Yakuwa bwe yakiraba yagamba nti: “Eddiini eyo yeewuunyisa. Abantu baayo balya bayimiridde.”

Bannamagye n’ab’obuyinza bwe baalaba engeri ab’oluganda gye baali bakolamu ebintu, nabo beewuunya nnyo. Oluvannyuma lw’okwetegereza engeri ab’oluganda gye baali bagabulamu emmere ku lukuŋŋaana olwali mu kisaawe ky’e Yankee mu kibuga New York, omukungu omu mu ggye ly’Amerika yakubiriza Meeja Faulkner ow’eggye lya Bungereza naye yeetegereze engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakolamu ebintu byabwe. Bwe kityo, mu 1955, Faulkner ne mukyala we baagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Twickenham, mu Bungereza. Faulkner yagamba nti yakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakola ebintu mu ngeri entegeke obulungi olw’okuba baagalana.

Okumala emyaka mingi, ab’oluganda baakolanga nga bannakyewa okufumbira abo abajjanga ku nkuŋŋaana ennene emmere ennungi etaali ya buseere. Naye omulimu ogwo gwali gwetaagisa bannakyewa bangi, nga gukooya nnyo, era ng’abagukola basubwa ebintu bingi mu lukuŋŋaana. Emyaka gya 1970 bwe gyali ginaatera okuggwaako, enteekateeka eyo yagonzebwamu mu bitundu by’ensi bingi. Ate mu 1995, ab’oluganda baakubirizibwa okujjanga n’emmere yaabwe. Ekyo kyasobozesa abo abaakolanga ogw’okufumba okuganyulwa mu nkuŋŋaana n’okufuna obudde okunyumyako ne bakkiriza bannaabwe. *

Nga Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba ng’ab’oluganda bangi bakola kyonna ekisoboka okuweereza bakkiriza bannaabwe nga babafumbira emmere ku nkuŋŋaana ennene! Abamu bayinza okuba nga basubwa nnyo ebiseera ebyo. Kyokka n’okutuusa leero, okwagala kye kimu ku bintu ebyeyoleka obulungi ku nkuŋŋaana zaffe ennene.Yok. 13:34, 35.

^ lup. 12 Kya lwatu nti ne leero waliwo emirimu mingi bannakyewa gye basobola okukola mu bitongole ebitali bimu ku nkuŋŋaana ennene.