Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Ddala Katonda Atulumirirwa?

Ddala Katonda Atulumirirwa?

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Rose azze mu maka g’omukyala ayitibwa Sophia.

LWAKI YALEKA EKINTU NG’EKYO OKUBAAWO?

Rose: Nsanyuse okukusisinkana nnyabo, nze Rose. Ate gwe ani?

Sophia: Nze Sophia. Nnange nsanyuse okukulaba.

Rose: Leero nkyaliddeko abantu b’omu kitundu kino nga mbawa akapapula kano. Kalina omutwe ogugamba nti Wandyagadde Okumanya Amazima? Kano ke kako.

Sophia: Kakwata ku bya ddiini?

Rose: Yee nnyabo. Weetegereze ebibuuzo omukaaga ebiri kungulu. Kiruwa ekisinze​—

Sophia: Koma awo. Omala biseera byo.

Rose: Lwaki ogamba bw’otyo nnyabo?

Sophia: Siri mukakafu obanga Katonda gyali.

Rose: Weebale kuba mwesimbu. Naye ka nkubuuze nnyabo, wava dda ng’olina endowooza eyo?

Sophia: Nedda. Nnagendanga mu kkanisa obutayosa, naye kati sikyalinnyayo.

Rose: Ooh. Naye nnandyagadde okumanya, waliwo ekintu kyonna ekyakuleetera okubuusabuusa obanga Katonda gyali?

Sophia: Yee. Maama yagwa ku kabenje emyaka 17 egiyise.

Rose: Bambi, nga yalaba. Yalumizibwa?

Sophia: Yee, era okuva olwo yasannyalala.

Rose: Kya nnaku nnyo. Oteekwa okuba ng’obonyeebonye nnyo naye.

Sophia: Kituufu, era kye kindeetera okwebuuza, Bwe kiba nti Katonda gyali, lwaki yaleka ekintu ng’ekyo okubaawo? Lwaki atuleka okubonaabona bwe tuti?

KIKYAMU OKUBUUZA ENSONGA LWAKI KATONDA ALESEEWO OKUBONAABONA?

Rose: Si kikyamu kwebuuza bibuuzo ng’ebyo. Bwe tuba tubonaabona, tutera okwebuuza ensonga lwaki tubonaabona. Mu butuufu, waliwo n’abantu abaali abeesigwa eri Katonda abeebuuzanga ebibuuzo ng’ebyo!

Sophia: Okakasa?

Rose: Yee. Wandyagadde nkulageyo ekyokulabirako kimu okuva mu Bayibuli?

Sophia: Osobola okukindaga.

Rose: Weetegereze ebibuuzo nnabbi Kaabakuuku bye yabuuza Katonda, ebiri mu Kaabakuuku 1:2, 3: “Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw’eby’ekyejo, so tokkiriza kulokola. Onjoleseza ki obutali butuukirivu n’otunuulira obukyamu?” Ebibuuzo ebyo bifaananako ebyo bye weebuuza?

Sophia: Ndaba bifaanagana.

Rose: Katonda teyakambuwalira nnabbi Kaabakuuku olw’okumubuuza ebibuuzo ebyo, era teyamugamba nti talina kukkiriza.

Sophia: Ekyo kyewuunyisa!

YAKUWA TAYAGALA BANTU KUBONAABONA

Rose: Bayibuli eyigiriza nti abantu bwe baba babonaabona Katonda akimanya era abalumirirwa.

Sophia: Ekyo mbadde sikimanyi.

Rose: Ka nkulage ekyokulabirako wano mu Okuva 3:7. Nkusaba osome olunyiriri olwo.

Sophia: Kale. Lugamba nti: ‘Mukama n’ayogera nti: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakozesa; kubanga mmanyi ennaku yaabwe.”’

Rose: Weebale nnyo. Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, abantu bwe baba babonaabona Katonda akimanya?

Sophia: Ekyawandiikibwa kiraze nti akimanya.

Rose: Kituufu. Bwe weetegereza akatundu akasembayo, Katonda agamba nti: ‘Mmanyi ennaku yaabwe.’ Singa Katonda takimanya ng’abantu be babonaabona yandibadde ayogera ebigambo ebyo?

Sophia: Nedda.

Rose: Ate era Katonda takoma ku kumanya bumanya nti tubonaabona, naye era atulumirirwa. Ka tulabe engeri gye yawuliramu ku mulundi omulala ng’abantu be babonaabona. Ka tusome Isaaya 63:9 (Bayibuli y’Oluganda eya 2003). Ekitundu ekisooka eky’olunyiriri olwo kigamba nti: “Yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna.” Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, Katonda yawulira atya ng’abantu be babonaabona?

Sophia: Kigambye nti yabalumirirwa.

Rose: Oli mutuufu, Katonda atufaako nnyo era tayagala tuboneebone. Ayisibwa bubi bw’alaba nga tubonaabona.

LWAKI AKYALESEEWO OKUBONAABONA?

Rose: Nga sinnagenda, waliwo ekintu ekirala Bayibuli ky’etutegeeza ku Katonda kye nnandyagadde okukubuulirako.

Sophia: Oyinza okukimbuulira.

Rose: Kiri wano mu Yeremiya 10:12. Wandyagadde okusoma olunyiriri olwo?

Sophia: Yee. Lugamba nti: “Yakola ensi olw’obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw’amagezi ge, era yabamba eggulu olw’okutegeera kwe.”

Rose: Weebale nnyo. Ka twogereko katono ku lunyiriri olwo. Olowooza Katonda teyakozesa maanyi mangi nnyo okutonda ebintu byonna?

Sophia: Yee. Ateekwa okuba nga yakozesa amaanyi mangi.

Rose: Okuva bwe kiri nti Katonda alina amaanyi mangi nnyo, waliwo ekiyinza okumulema?

Sophia: Nedda.

Rose: Ddamu olowooze ku maama wo. Lwaki kikuyisa bubi okulaba ng’abonaabona?

Sophia: Kubanga mmwagala nnyo.

Rose: Singa olina obusobozi, tewandimuwonyezza?

Sophia: Nnandimuwonyezza.

Rose: Kati ate lowooza ku Katonda. Bayibuli eraze nti Katonda akimanyi nti tubonaabona, atulumirirwa, era nti alina amaanyi mangi. Teeberezaamu obugumiikiriza bw’alaze, okuba nti akyaleseewo okubonaabona!

Sophia: Mbadde sikirowoozangako bwe ntyo.

Rose: Kyandiba nti alina ensonga lwaki akyaleseewo okubonaabona? *

Sophia: Hmm, kyandiba nti alina ensonga.

Rose: Mpulira waliwo akukubira essimu, nja kukomawo omulundi omulala twongere okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno.

Sophia: Weebale nnyo. Nneesunga okuddamu okukulaba. *

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda, oba ekintu kyonna ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ Okumanya ebisingawo, laba essuula 11 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ Ekitundu ekiraga ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona kijja kufulumira mu magazini eno gye bujja.