Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABAJULIRWA BA YAKUWA BE BAANI?

Lwaki Tubuulira?

Lwaki Tubuulira?

Okubuulira kye kintu abantu kye basinga okumanya ku Bajulirwa ba Yakuwa. Tubuulira nnyumba ku nnyumba, mu bifo ebya lukale, ne wonna we tusanga abantu. Lwaki tukola bwe tutyo?

Tubuulira tusobole okugulumiza Katonda n’okumanyisa erinnya lye. (Abebbulaniya 13:15) Ate era, tuba tugondera ekiragiro kya Kristo Yesu eyagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”Matayo 28:19, 20.

Ensonga endala lwaki tubuulira eri nti, twagala nnyo bantu bannaffe. (Matayo 22:39) Tukimanyi nti abantu abasinga baba n’enzikiriza zaabwe, era nti abamu bayinza obutatuwuliriza. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti obubaka obuli mu Bayibuli bujja kusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. Eyo ye nsonga lwaki tweyongera “okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu awatali kuddirira,” ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakola.—Ebikolwa 5:41, 42.

Antonio Cova Maduro, omukugu mu mbeera z’abantu yawandiika “ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bafubamu ne batuuka n’okukoowa . . . , basobole okutuusa Ekigambo kya Katonda mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”—Olupapula lw’amawulire, El Universal olw’omu Venezuela

Abantu abasinga obungi abasoma ebitabo byaffe si Bajulirwa ba Yakuwa. Ate era abantu bukadde na bukadde be tuyigiriza Bayibuli ba madiini malala. Naye basanyufu okuyigira awamu naffe Bayibuli.

Bw’oba olina ebibuuzo ebirala bye weebuuza ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, kola ekimu ku bino wammanga.

  • Tuukirira Omujulirwa wa Yakuwa yenna.

  • Genda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, www.dan124.com/lg.

  • Genda mu bifo gye tusinziza, era okuyingira kwa bwereere.