Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Okusaba—Engeri gye Kuyinza Okukuganyulamu

Okusaba—Engeri gye Kuyinza Okukuganyulamu

Mu mbeera eza bulijjo omuntu bw’aba tannabaako ky’akola asooka kwebuuza nti, ‘Nnaaganyulwa ntya?’ Kikyamu okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo bwe kituuka ku kusaba? Si kikyamu kubuuza kibuuzo ng’ekyo kubanga tuba twagala okumanya obanga okusaba kulimu omuganyulo gwonna. Ne Yobu omusajja eyali atya Katonda lumu yeebuuza nti: “Bwe nnaamukoowoola, anannyanukula?”Yobu 9:16, NW.

Mu bitundu ebivuddeko, tulabye nti okusaba si kutuusa butuusa luwalo. Yakuwa Katonda ow’amazima awulira okusaba kwaffe singa tumusaba mu ngeri entuufu. Mu butuufu, atukubiriza okufuuka mikwano gye. (Yakobo 4:8) Kati ka tulabe emiganyulo egiri mu kusaba.

Tufuna emirembe mu mutima.

Bw’ofuna ebizibu owulira nga weeraliikiridde nnyo? Mu mbeera ng’eyo, Bayibuli etukubiriza ‘okusaba bulijjo’ era ‘n’okutegeeza Katonda bye twetaaga.’ (1 Abasessaloniika 5:17; Abafiripi 4:6) Bayibuli etukakasa nti bwe tusaba, ‘emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ (Abafiripi 4:7) Bwe tweyabiza Kitaffe ow’omu ggulu, tufuna emirembe mu mutima. Mu Zabbuli 55:22, Bayibuli egamba nti: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.”

“Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.”Zabbuli 55:22

Abantu bangi bafunye emirembe egyo. Hee Ran, ow’omu South Korea, agamba nti: “Wadde nga nnina ebizibu eby’amaanyi, bwe nsaba, mpulira nga gwe batikudde omugugu omuzito era nfuna amaanyi ne nsobola okugumiikiriza.” Omukyala ayitibwa Cecilia, ow’omu Philippines, agamba nti: “Nneeraliikirira nnyo engeri gye nnaalabiriramu bawala bange ne maama wange akaddiye ennyo era atakyasobola kuntegeera olw’obulwadde. Naye okusaba buli lunaku kinnyambye obuteeraliikirira nnyo kuba nkimanyi nti Yakuwa annyamba.”

Tuguma era tubudaabudibwa nga tulina ebizibu.

Olina ebikweraliikiriza, oboolyawo ebiyinza n’okukuviirako obulwadde obw’amaanyi? Okusaba “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” kijja kukuyamba okufuna obuweerero. Bayibuli egamba nti, “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3, 4) Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu bwe yali mu nnaku ey’amaanyi, ‘yafukamira, n’atandika okusaba.’ Kiki ekyavaamu? ‘Malayika yava mu ggulu n’amulabikira, n’amuzzaamu amaanyi.” (Lukka 22:41, 43) Nekkemiya, omuweereza wa Katonda omulala, yatiisibwatiisibwa abantu ababi abaali baagala alekere awo okukola omulimu gwa Katonda. Yasaba Katonda nti: “Naye kaakano, Ai Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.” Ebyaddirira biraga nti Katonda yayamba Nekkemiya n’alekera awo okutya era n’amaliriza bulungi omulimu gwe yali akola. (Nekkemiya 6:9-16) Reginald, abeera e Ghana, ayogera bw’ati ku kusaba: “Bwe nsaba, naddala nga nnina ekizibu eby’amaanyi, muli mpulira nti ekizibu kyange nkibuulidde oyo asobola okunnyamba.” Awatali kubuusabuusa, bwe tusaba Katonda, atubudaabuda.

Tufuna amagezi agava eri Katonda.

Ebintu ebimu bye tusalawo biyinza okukwata ku bulamu bwaffe n’obw’abalala ebbanga lyonna. Kati olwo tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Bayibuli egamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi [naddala ng’afunye ebizibu], asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” (Yakobo 1:5) Bwe tusaba Katonda atuwe amagezi, asobola okutuwa omwoyo gwe omutukuvu ne gutusobozesa okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mu butuufu, tusobola okusaba Katonda atuwe omwoyo omutukuvu kubanga Yesu yagamba nti, ‘Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!’Lukka 11:13.

“Nnasaba Katonda ampe obulagirizi nsobole okusalawo obulungi.”—Kwabena, abeera e Ghan

Ne Yesu yasaba Kitaawe amuyambe okusalawo obulungi. Bwe yali agenda okulonda abasajja 12 abandifuuse abatume be, ‘yamala ekiro kyonna ng’asaba Katonda.’Lukka 6:12.

Okufaananako Yesu, bangi baddamu amaanyi bwe balaba engeri Katonda gy’azzeemu essaala zaabwe. Regina, ow’omu Philippines, agamba nti oluvannyuma lw’okufiirwa omwami we n’omulimu gwe, afunye okusoomoozebwa okw’amaanyi okulabirira abaana be. Kiki ekimuyamba ng’aliko by’asalawo? Agamba nti: “Nsaba Yakuwa n’annyamba okusalawo obulungi.” Kwabena, abeera e Ghana, agamba nti: “Nnafiirwa omulimu gwange ogw’obuzimbi ogwali gunsansula obulungi.” Bwe yali anoonya omulimu omulala agamba nti: “Nnasaba Katonda ampe obulagirizi nsobole okusalawo obulungi, era yannyamba ne nsobola okufuna omulimu ogunsobozesa okweyongera okukola by’ayagala.” Naawe bw’oba olina ky’oyagala okusalawo, osobola okusaba Katonda akuwe obulagirizi osobole okusalawo obulungi.

Egyo gye gimu ku miganyulo egiri mu kusaba. (Okumanya emiganyulo emirala, laba ebiri wansi w’omutwe, “ Emiganyulo Emirala Egiri mu Kusaba.”) Naye okusobola okuganyulwa mu kusaba, kikwetaagisa okusooka okumanya Katonda n’ebyo by’ayagala. Tukukubiriza okutuukirira Abajulirwa ba Yakuwa bakuyambe okuyiga Bayibuli. * Ekyo kijja kukusobozesa okufuuka mukwano gwa Katonda, oyo “awulira okusaba.”Zabbuli 65:2.

^ lup. 14 Okumanya ebisingawo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba genda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, www.dan124.com/lg.