Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bamalayika

Bamalayika

Waliwo ebifaananyi bingi, firimu, n’ebitabo ebyogera oba ebikwata ku bamalayika. Naye bamalayika be baani, era bakola mulimu ki?

Bamalayika be baani?

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Katonda bwe yali tannatonda nsi n’obwengula n’abantu abaasooka, yasooka kutonda bitonde ebitegeera era ebya waggulu ku bantu. Bya maanyi okusinga abantu, era bibeera eyo Katonda gy’abeera, abantu gye batalaba era gye batasobola kutuuka. (Yobu 38:4, 7) Ebitonde ebyo mu Bayibuli biyitibwa “myoyo” oba “bamalayika.”Zabbuli 104:4. *

Bamalayika bali bameka? Bangi nnyo. Bayibuli egamba nti bamalayika abeetoolodde entebe ya Katonda bali “mitwalo na mitwalo era nkumi na nkumi.” (Okubikkulirwa 5:11) Mu butuufu bamalayika bali mu bukadde na bukadde!

“Ne ndaba . . . bamalayika bangi abaali beetoolodde entebe y’obwakabaka . . . , era omuwendo gwabwe gwali mitwalo na mitwalo era nkumi na nkumi.”Okubikkulirwa 5:11.

Biki bamalayika bye baakola mu biseera eby’edda?

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Bamalayika baateranga okukola ng’aboogezi oba ababaka ba Katonda. * Era Bayibuli eyogera ku byamagero ebimu Katonda bye yabakozesa okukola. Katonda yatuma malayika okuwa Ibulayimu omukisa n’okumuziyiza okusaddaaka mutabani we Isaaka. (Olubereberye 22:11-18) Malayika yalabikira Musa mu kisaka ekyaka omuliro n’abaako obubaka obukulu bw’amutegeeza. (Okuva 3:1, 2) Nnabbi Danyeri bwe yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma, ‘Katonda yatuma malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma.’Danyeri 6:22.

“Malayika wa Yakuwa n’amulabikira mu nnimi z’omuliro ogwali gwakira wakati mu kisaka.”Okuva 3:2.

Biki bamalayika bye bakola leero?

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Tetusobola kumanya byonna bamalayika bye bakola leero. Naye Bayibuli eraga nti beenyigira mu mulimu gw’okuyamba abantu ab’emitima emirungi okumanya ebikwata ku Katonda.Ebikolwa 8:26-35; 10:1-22; Okubikkulirwa 14:6, 7.

Yakuwa yaloosa Yakobo ekirooto n’alaba bamalayika nga bakkirira era nga bambukira ku ‘madaala’ agaali gava ku nsi nga gatuukira ddala mu ggulu. (Olubereberye 28:10-12) Ekyo kiraga nti Yakuwa Katonda atuma bamalayika ku nsi okuyamba abantu be abeesigwa ababa beetaaga obuyambi.Olubereberye 24:40; Okuva 14:19; Zabbuli 34:7.

“Waaliwo amadaala nga gasimbiddwa ku nsi, ng’entikko yaago etuukira ddala mu ggulu, nga bamalayika ba Katonda bagambukirako era nga bagakkirako.”Olubereberye 28:12.

^ lup. 6 Bayibuli eraga nti waliwo bamalayika abaajeemera Katonda, era ebayita ‘badayimooni.’Lukka 10:17-20.

^ lup. 11 Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyavvuunulwa nga “malayika” mu Bayibuli bitegeeza “omubaka.”