Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lumirirwa Abalala

Lumirirwa Abalala

Obuzibu

Bwe tussa ennyo ebirowoozo ku njawulo eziriwo wakati waffe n’abalala, kiyinza okutuleetera okulowooza nti ebintu eby’enjawulo abalala bye balina bikyamu oba tuyinza okubitunuulira ng’obunafu. Mu ngeri endala, tuba tutwala abantu ab’enjawulo ku ffe okuba aba wansi. Bwe tutandika okutunuulira abantu bwe tutyo, kiba kizibu okubalumirirwa. Bwe tuba tetulumirirwa balala kiyinza okulaga nti tulina obusosoze.

Amagezi Okuva mu Bayibuli

“Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabire wamu n’abo abakaaba.”​—ABARUUMI 12:15.

Kitegeeza ki? Amagezi ago gasobola okuwumbibwawumbibwako mu bigambo bino bibiri: lumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala kwe kwessa mu bigere byabwe n’ogezaako okuwulira nga bwe bawulira.

Emiganyulo Egiri mu Kulumirirwa Abalala

Bwe tulumirirwa omuntu kisobola okutuyamba okukiraba nti waliwo bye tufaanaganya n’omuntu oyo. Tuyinza okukiraba nti awulira nga naffe bwe twandiwulidde era nti yeeyisa nga naffe bwe twandyeyisizza. Okulumirirwa abalala kituyamba okukiraba nti abantu bonna ka babe nga bava mu mbeera ki, be bamu. Bwe tussa ebirowoozo ku bintu bye tufaanaganya n’abantu abalala, kituyamba obutabalowoozaako bubi.

Ate era okulumirirwa abalala kituyamba okubawa ekitiibwa. Anne-Marie, ow’omu Senegal, edda yanyoomanga abantu abanaku. Annyonnyola engeri okulumirirwa abalala gye kyamuyamba. Agamba nti: “Bwe nnalaba embeera enzibu abantu abo gye bayitamu, muli nneebuuza engeri gye nnandiwuliddemu singa nze nnali bo. Ekyo kyannyamba okukiraba nti siri wa waggulu ku bantu abo. Sirina kye nnakola kinfuula kuba wa waggulu ku bo.” Bwe tufumiitiriza ku mbeera enzibu abalala gye bayitamu, kiyinza okutuleetera okubalumirirwa mu kifo ky’okubakolokota.

Ky’Oyinza Okukola

Bwe waba waliwo abantu b’olinako endowooza etali nnungi, fuba okulaba by’ofaanaganya nabo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye bawuliramu

Okulumirirwa abalala kituyamba okukiraba nti abantu bonna be bamu

  • nga baliira wamu emmere n’ab’omu maka gaabwe

  • ku nkomerero y’olunaku lwe bamaze nga bakola nnyo

  • nga baliko wamu ne mikwano gyabwe

  • nga bawuliriza ennyimba ezisinga okubanyumira

Ekiddako, gezaako okwessa mu bigere byabwe. Weebuuze:

  • ‘Nnandiwulidde ntya singa waliwo omuntu andeetera okuwulira nti sirina mugaso?’

  • ‘Nnandiwulidde ntya singa abalala babaako bye bandowooleza nga tebannaba na kumanya binkwatako?’

  • ‘Singa nnali omu ku bantu abo be nninako endowooza embi, nnandyagadde abalala bampise batya?’