Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 4 2017 | Owulira ng’Eby’Okukola Bikuyitiriddeko?

Leero abantu bangi balina eby’okukola bingi nnyo ne kiba nti oluusi ekyo kikosa enkolagana yaabwe n’abalala awamu n’ab’omu maka gaabwe.

Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe?

Bayibuli egamba nti: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”​—Omubuulizi 4:6.

Magazini eno eya “Zuukuka!” ewa amagezi amalungi agasobola okukuyamba okukozesa obulungi ebiseera byo, n’okumanya ebintu ebisinga obukulu.

 

OMUTWE OGULI KUNGULU

Owulira ng’Eby’Okukola Bikuyitiriddeko?

Abantu abamu kibazibuwalira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe balina awaka ne ku mulimu. Obuzibu buva wa? Kiki ekisobola okubayamba?

Enkobyokkobyo Ezibeera mu Mambuka g’Ensi

Okumala ekiseera kiwanvu, kyali kirowoozebwa nti enkobyokkobyo ezibeera mu mambuka g’ensi zibuuka olugendo lwa mayiro 22,000 okuva mu mambuka g’ensi okutuuka mu maserengeka g’ensi n’okuddayo. Naye akanyonyi ako kabuuka olugendo luwanvu n’okusingawo.

‘Erinnya Eddungi Lisinga eby’Obugagga Ebingi’

Kisoboka okuba n’erinnya eddungi n’okussibwamu ekitiibwa. Ekyo kisoboka kitya?

EBIYAMBA AMAKA

Abaana nga Bavudde Awaka

Abafumbo abamu boolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi ng’abaana baabwe bavudde awaka. Kiki ekisobola okubayamba mu mbeera ng’eyo?

OKUBUUZA EBIBUUZO

Omusawo w’Obwongo Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

Professor Rajesh Kalaria annyonnyola ebikwata ku mulimu gwe n’enzikiriza ye. Kiki ekyamuleetera okwagala ssaayansi? Kiki ekyamuleetera okutandika okunoonyereza ebikwata ku nsibuko y’obulamu?

BAYIBULI KY'EGAMBA

Okukemebwa

Obufumbo okusatulukuka, obulwadde, n’okulumirizibwa omuntu ow’omunda bye bimu ku ebyo ebiva mu kutwalirizibwa ebikemo. Oyinza otya okwewala okugwa mu bikemo?

KYAJJAWO KYOKKA?

Ekibala Ekya Bbulu Ekiyitibwa Pollia

Ekibala ekiyitibwa Pollia tekiriimu nsaano ya bbulu, naye kirina langi ya bbulu esingayo obukwafu mu bimera byonna. Langi ya bbulu eyo eva wa?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okuba n’Amaka Agalimu Essanyu?

Amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli gayambye abasajja n’abakazi bukadde na bukadde okufuna essanyu mu maka gaabwe.