Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

COVID Asse Abantu Obukadde 6​—Ekyo Bayibuli Ekyogerako Ki?

COVID Asse Abantu Obukadde 6​—Ekyo Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Okusinziira ku Kitongole ky’Eby’obulamu eky’Ensi Yonna, Maayi 23, 2022, we lwatuukira, abantu obukadde 6 n’emitwalo 27 be baali bafudde ekirwadde kya COVID-19. Kyokka amawulire agaafulumizibwa ekitongole ekyo nga 5 Maayi, 2022, gaalaga nti omuwendo gw’abantu abaafa gwali gusingawo. Kyagamba nti mu 2020 ne 2021, “abantu abaafa obutereevu olwa COVID-19 oba olw’ebizibu ebyaleetebwawo ekirwadde ekyo . . . baali obukadde nga 14 n’emitwalo 90.” Bayibuli erina ky’eyogera ku bulwadde ng’obwo obwaviirako ennaku ey’amaanyi?

Bayibuli yalagula ku ndwadde ez’amaanyi

  •    Yesu yalagula nti wandibaddewo “endwadde ez’amaanyi mu bifo ebitali bimu,” oba endwadde ezisaasaana ennyo mu “nnaku ez’enkomerero.”—Lukka 21:11; 2 Timoseewo 3:1.

 Obunnabbi bwa Yesu butuukirira leero. Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe What Is the Sign of ‘the Last Days,’ or ‘End Times’?

Bayibuli etubudaabuda

  •    “Katonda ow’okubudaabuda kwonna. . . atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”—2 Abakkolinso 1:3, 4.

 Bangi abafiiriddwa abantu baabwe babudaabudiddwa obubaka obuli mu Bayibuli. Okumanya ebisingawo, soma ekitundu “Okwaŋŋanga Ennaku gy’Ofuna ng’Ofiiriddwa—By’Oyinza Okukola” ne “Obuyambi Obusingayo Obulungi eri Abo Abafiiriddwa.”

Bayibuli eraga ekinaagonjoola ebizibu byonna

  •    “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:10.

 Mu kiseera ekitali kya wala “Obwakabaka bwa Katonda” bujja kukakasa nti “tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’” (Makko 1:14, 15; Isaaya 33:24) Laba vidiyo Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? omanye ebisingawo ebikwata ku gavumenti eno ey’omu ggulu ne ky’ejja okukola.

 Tukukubiriza okweyongera okuyiga Bayibuli ky’egamba, ggwe n’ab’omu maka go musobole okumanya amagezi n’ebisuubizo ebigirimu.