Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?

Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Etteeka ery’okuwaayo “eriiso olw’eriiso” lyali mu mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri ab’edda ng’ayitira mu Musa, era ne Yesu yalyogerako mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi. (Matayo 5:38; Okuva 21:24, 25; Ekyamateeka 19:21) Litegeeza nti omuntu yandiweereddwa ekibonerezo ekyenkana n’omusango gw’azzizza. a

 Etteeka eryo lyakolanga ku muntu eyabanga akoze munne ekibi mu bugenderevu. Lyali ligamba nti: “Amenya munne eggumba n’erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso, n’erinnyo olw’erinnyo; ebisago omuntu by’anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.”—Eby’Abaleevi 24:20.

 Etteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso” lyalina kigendererwa ki?

 Etteeka eryo lyali teriwa bantu bbeetu kwesasuza. Wabula lyayambanga abalamuzi okusala emisango mu bwenkanya.

 Ate era lyalabulanga abantu obutakola bannaabwe bintu bikyamu mu bugenderevu. Etteeka lyali ligamba nti: “Abanaabanga basigaddewo [abanaabanga balabye ng’omuntu aweebwa ekibonerezo ekimugwanira] banaakiwuliranga ne batya, era tebaliddamu kukola kibi ng’ekyo mu mmwe.”—Ekyamateeka 19:20.

 Abakristaayo nabo basaanidde okugoberera etteeka eryo?

 Nedda, Abakristaayo tebali wansi w’etteeka eryo. Lyali limu ku mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri agaggibwawo olw’okufa kwa Yesu.—Abaruumi 10:4.

 Wadde kiri kityo, etteeka eryo lituyamba okumanya endowooza ya Katonda. Ng’ekyokulabirako, liraga nti Katonda ayagala nnyo obwenkanya. (Zabbuli 89:14) Ate era liraga omutindo gwe ogw’obwenkanya. Ayagala ababi babonerezebwe “ku kigero ekisaanira.”—Yeremiya 30:11.

 Endowooza enkyamu ezikwata ku tteeka erigamba nti owangayo “eriiso olw’eriiso”

 Endowooza enkyamu: Etteeka eryo lyali kkakali nnyo.

 Ekituufu: Etteeka eryo lyali terikkiriza kubonereza muntu mu ngeri ey’obukambwe. Wabula okusinziira ku tteeka eryo, abalamuzi bandiwadde omuntu ekibonerezo nga bamaze kwetegereza ebizingirwa mu musango gwe yazza, era obanga omusango ogwo yaguzza mu bugenderevu. (Okuva 21:28-30; Okubala 35:22-25) N’olwekyo, etteeka eryo teryali kkakali wabula lyabayambanga okuwa omuntu ekibonerezo ekisaanira.

 Endowooza enkyamu: Etteeka eryo lyaleeteranga abantu okwesasuza.

 Ekituufu: Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri mwalimu erigamba nti: “Towooleranga ggwanga wadde okusibira abaana b’abantu bo ekiruyi.” (Eby’Abaleevi 19:18) Mu kifo ky’okuleetera abantu okwesasuza bannaabwe, etteeka eryo lyayambanga abantu okwesiga Katonda era n’okwesiga amateeka ge yali ataddewo okugonjoola ensonga.—Ekyamateeka 32:35.

a Etteeka eryo oluusi eriyitibwa lex talionis mu Lulattini, era lyakozesebwa ne mu mawanga amalala mu biseera eby’edda.