Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?

Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda. Bayibuli tegamba nti ssente mbi oba nti ssente ye nsibuko y’ebintu ebibi byonna. Ebigambo ebitera okwogerwa ebigamba nti “ssente ye nsibuko y’ebintu ebibi byonna” bigambo ebitaggibwayo byonna okuva mu Bayibuli era bibuzaabuza. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti “okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri.”—1 Timoseewo 6:10, okuggumiza kwaffe.

 Bayibuli eyogera ki ku ssente?

 Bayibuli eraga nti ssente bwe kikozesebwa obulungi zisobola okuba ez’omugaso era zisobola n’okuba ‘ez’obukuumi.’ (Omubuulizi 7:12) Okugatta ku ekyo, Bayibuli eraga nti kirungi okuba n’omwoyo omugabi, era ekyo kiyinza okuzingiramu okukozesa ssente okugulira abalala ebirabo.—Engero 11:25.

 Mu kiseera kye kimu, Bayibuli etulabula ku kukulembeza ssente mu bulamu bwaffe. Egamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.” (Abebbulaniya 13:5) Eky’okuyiga kiri nti tusaanidde okukozesa obulungi ssente era n’obutaluubirira bya bugagga. Ate era, tusaanidde okuba abamativu n’ebyetaago by’obulamu, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula.—1 Timoseewo 6:8.

 Lwaki Bayibuli etulabula ku kwagala ssente?

 Abantu ab’omululu tebajja kufuna bulamu butaggwaawo. (Abeefeso 5:5) Ensonga emu eri nti, omululu kuba kusinza bifaananyi, oba okusinza okw’obulimba. (Abakkolosaayi 3:5) Ensonga endala eri nti, mu kugezaako kufuna bye beegomba, abantu ab’omululu tebatera kugoberera magezi malungi. Engero 28:20 wagamba nti: ‘Abo abaagala okugaggawala amangu tebaaleme kubaako kya kunenyezebwa.’ Bayinza n’okukola ebintu ebibi, gamba ng’okutiisatiisa abantu nga baagala okubaggyako ssente, obunyazi, obukumpanya, okuwamba abantu, oba okutta.

 Ne bwe kiba nti okwagala ssente tekireetera muntu kwenyigira mu mpisa mbi, kusobola okuvaamu ebintu ebibi ebirala. Bayibuli egamba nti: “Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi.”—1 Timoseewo 6:9.

 Amagezi Bayibuli g’ewa ku ssente gayinza gatya okutuyamba?

 Bwe tutakkiriza ssente kutulemesa kukola kituufu oba ebyo ebisanyusa Katonda, tujja kussibwamu ekitiibwa, tusiimibwe Katonda era tufune n’obuyambi bwe. Katonda asuubiza abo abafuba okumusanyusa nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Abebbulaniya 13:5, 6) Ate era atukakasa nti, “omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi.”—Engero 28:20.