1 Timoseewo 6:1-21

  • Abaddu bawe bakama baabwe ekitiibwa (1, 2)

  • Abayigiriza eby’obulimba n’abaagala ssente (3-10)

  • Okubuulirira eri omusajja wa Katonda (11-16)

  • Bakolenga ebirungi (17-19)

  • Kuuma kye wateresebwa (20, 21)

6  Abo abali mu kikoligo ky’obuddu basaanidde okutwala bakama baabwe ng’abagwanidde okuweebwa ekitiibwa ekingi,+ erinnya lya Katonda n’okuyigiriza bireme kwogerwako bubi.+  Ate era, abo abalina bakama baabwe abakkiriza baleme kubanyooma olw’okuba ba luganda. Wabula, babaweerezenga nga basanyufu kubanga abo abaganyulwa mu buweereza bwabwe obulungi bakkiriza bannaabwe era baganda baabwe abaagalwa. Weeyongere okuyigiriza ebintu bino n’okubibakuutira.  Singa omuntu yenna ayigiriza enjigiriza endala era nga takkiriziganya na bulagirizi obw’omuganyulo+ obuva eri Mukama waffe Yesu Kristo, wadde okuyigiriza okukwatagana n’okwemalira ku Katonda,+  aba wa malala era talina kintu kyonna ky’ategeera.+ Yatamiira okukuba empaka n’okuwakana ku bigambo.+ Ebintu bino bivaamu obuggya, okuyomba, okuwaayiriza,* okulowooleza abalala ebintu ebibi,  n’okukaayana ku bintu ebitaliimu okuleetebwawo abantu aboonoonefu mu birowoozo+ era abatakyategeera mazima, abalowooza nti okwemalira ku Katonda kitegeeza kwefunira bintu.+  Mazima ddala, okwemalira ku Katonda+ awamu n’okuba omumativu mulimu empeera nnene.  Kubanga tetwaleeta kintu kyonna mu nsi era tetulina kye tuyinza kuggyamu.+  N’olwekyo, bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.+  Kyokka abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego+ era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.+ 10  Kubanga okwagala ennyo ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri, era olw’okuzaagala ennyo abamu bakyamiziddwa ne bava mu kukkiriza ne beereetera obulumi bungi.+ 11  Kyokka ggwe omusajja wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo. Naye luubiriranga obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.+ 12  Lwananga olutalo olulungi olw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa era n’oyatula mu maaso g’abajulirwa abangi. 13  Mu maaso ga Katonda abeesaawo ebintu byonna nga biramu, ne mu maaso ga Kristo Yesu, eyawa obujulirwa mu lujjudde eri Pontiyo Piraato,+ nkulagira 14  okukwatanga ekiragiro nga toliiko bbala wadde eky’okunenyezebwa, okutuusa ku kulabisibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo,+ 15  oyo omusanyufu era alina obuyinza obungi kw’alyoleka mu kiseera kyakwo ekigereke. Ye Kabaka w’abo abafuga nga bakabaka era Mukama w’abo abafuga ng’abaami,+ 16  oyo yekka atayinza kufa,+ abeera mu kitangaala ekitasemberekeka,+ omuntu yenna gw’atalabangako era gw’atayinza kulaba.+ Aweebwe ekitiibwa n’obuyinza obutaggwaawo. Amiina. 17  Lagira abagagga ab’omu nteekateeka y’ebintu eno* obuteegulumiza, n’obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera,+ wabula baliteeke mu Katonda atuwa mu bungi ebintu byonna ebitusanyusa.+ 18  Bagambe bakolenga ebirungi, babenga bagagga mu bikolwa ebirungi, babenga bagabi, bagabanenga n’abalala,+ 19  bwe bakola bwe batyo, bajja kuba beeterekera eky’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso,+ basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.+ 20  Timoseewo, kuuma kye wateresebwa,+ nga weewala ebigambo ebitaliimu ebityoboola ebintu ebitukuvu, era nga weewala n’endowooza ezikontana, mu bukyamu ze bayita “okumanya.”+ 21  Abamu olw’okweraga nti balina okumanya ng’okwo, bavudde mu kukkiriza. Ekisa eky’ensusso kibeere nammwe.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okuvuma.”
Laba Awanny.