Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda

ENGERI Y’OKUZUULAMU EKYAWANDIIKIBWA MU BAYIBULI

Bayibuli erimu ebitabo 66. Erimu ebitundu bibiri: Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Olulamayiki (“Endagaano Enkadde”) n’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani (“Endagaano Empya”). Buli kitabo kya Bayibuli kirimu essuula n’ennyiriri. Ekyawandiikibwa bwe kijulizibwa, ennamba eddirira erinnya ly’ekitabo y’eba essuula, ate ennamba eddako oba ennamba eziddako ze ziba ennyiriri. Ng’ekyokulabirako, Olubereberye 1:1 kitegeeza Olubereberye essuula 1, olunyiriri 1.