Olubereberye 1:1-31

  • Okutondebwa kw’eggulu n’ensi (1, 2)

  • Ensi eteekebwateekebwa okumala ennaku mukaaga (3-31)

    • Olunaku olusooka: ekitangaala; emisana n’ekiro (3-5)

    • Olunaku olw’okubiri: ebbanga (6-8)

    • Olunaku olw’okusatu: olukalu n’ebimera ((9-13)

    • Olunaku olw’okuna: ebyaka eby’omu bbanga ((14-19)

    • Olunaku olw’okutaano: ebyennyanja n’ebinyonyi (20-23)

    • Olunaku olw’omukaaga: ebisolo eby’oku lukalu n’abantu (24-31)

1  Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.+  Ensi yali yeetabuddetabudde era nga njereere; ekizikiza kyali kikutte ku buziba*+ era ng’omwoyo*+ gwa Katonda gudda eno n’eri kungulu ku mazzi.+  Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala.+  Katonda n’alaba ng’ekitangaala kirungi, bw’atyo Katonda n’ayawula ekitangaala ku kizikiza.  Katonda ekitangaala n’akiyita Emisana, ate ekizikiza n’akiyita Ekiro.+ Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olusooka.  Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ebbanga+ wakati w’amazzi, amazzi gaawulwemu ebitundu bibiri.”*+  Katonda n’akola ebbanga, n’ayawula amazzi agali wansi w’ebbanga ku ago agali waggulu w’ebbanga.+ Ne kiba bwe kityo.  Ebbanga Katonda n’aliyita Eggulu. Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okubiri.  Katonda n’agamba nti: “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu era olukalu lulabike.”+ Ne kiba bwe kityo. 10  Katonda olukalu n’aluyita Ensi,+ ate amazzi agaakuŋŋaana awamu n’agayita Ennyanja.+ Katonda n’alaba nga kirungi.+ 11  Katonda n’agamba nti: “Ensi emereko omuddo, ebimera ebibala ensigo n’emiti egibala ebibala ebirimu ensigo okusinziira ku bika byabyo.” Ne kiba bwe kityo. 12  Ensi n’etandika okumerako omuddo, ebimera+ ebibala ensigo okusinziira ku bika byabyo, n’emiti egibala ebibala ebirimu ensigo okusinziira ku bika byagyo. Awo Katonda n’alaba nga kirungi. 13  Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okusatu. 14  Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ebyaka+ mu bbanga ery’eggulu byawule emisana n’ekiro;+ bijja kubeeranga bubonero obulaga ebiseera, n’ennaku n’emyaka.+ 15  Bijja kwakiranga mu bbanga ery’eggulu bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. 16  Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri; ekisinga obunene kifugenga emisana+ ate ekitono kifugenga ekiro, era n’akola n’emmunyeenye.+ 17  Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ery’eggulu okumulisa ensi, 18  n’okufuganga emisana n’ekiro era n’okwawulanga ekitangaala n’ekizikiza.+ Awo Katonda n’alaba nga kirungi. 19  Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okuna. 20  Katonda n’agamba nti: “Mu mazzi mujjule ebiramu, era n’ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery’eggulu.”+ 21  Katonda n’atonda ensolo ennene ez’omu nnyanja n’ebiramu byonna ebiwuga era ebijjudde mu mazzi okusinziira ku bika byabyo, n’ebibuuka ebirina ebiwaawaatiro okusinziira ku bika byabyo. Katonda n’alaba nga kirungi. 22  Katonda n’abiwa omukisa ng’agamba nti: “Muzaale mwale mujjule mu mazzi ag’omu nnyanja,+ era n’ebibuuka byale mu nsi.” 23  Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okutaano. 24  Katonda n’agamba nti: “Ensi ereete ebirina obulamu okusinziira ku bika byabyo: ensolo ez’awaka, ensolo ezeewalula,* n’ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika+ byazo.” Ne kiba bwe kityo. 25  Katonda n’akola ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika byazo, n’ensolo ez’awaka okusinziira ku bika byazo, n’ensolo zonna ezeewalula ku ttaka okusinziira ku bika byazo. Katonda n’alaba nga kirungi. 26  Katonda n’agamba nti: “Tukole+ omuntu mu kifaananyi+ kyaffe, ng’alinga ffe,+ bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebiramu ebibuuka mu bbanga, n’ensolo ez’awaka, n’ensi yonna, n’ensolo zonna ezeewalula ku nsi.”+ 27  Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye; yamutonda mu kifaananyi kya Katonda; yabatonda omusajja n’omukazi.+ 28  Katonda n’abawa omukisa, Katonda n’abagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi+ mubeere n’obuyinza ku yo,+ era mufugenga+ ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.” 29  Katonda n’agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebibala ensigo ebiri ku nsi yonna, na buli muti oguliko ebibala ebirimu ensigo, bibeerenga emmere yammwe.+ 30  Era buli nsolo ey’omu nsiko, na buli kiramu ekibuuka mu bbanga, na buli kintu ekitambula ku nsi ekirina obulamu, mbiwadde omuddo okuba emmere+ yaabyo.” Ne kiba bwe kityo. 31  Oluvannyuma lw’ebyo Katonda n’alaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.+ Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’omukaaga.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ku mazzi ageefuukuula.”
Oba, “ng’amaanyi ga Katonda.”
Kwe kugamba, okwawula amazzi aga waggulu ku ga wansi.
Ekigambo kino mu Lwebbulaniya kikozesebwa ku bitonde ng’emmese, emisota, n’ebiwuka.