1 Bassekabaka 19:1-21

  • Eriya adduka Yezebeeri (1-8)

  • Yakuwa alabikira Eriya e Kolebu (9-14)

  • Eriya afuka amafuta ku Kazayeeri, ku Yeeku, ne ku Erisa (15-18)

  • Erisa alondebwa okusikira Eriya (19-21)

19  Awo Akabu+ n’abuulira Yezebeeri+ byonna Eriya bye yali akoze, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala.+  Yezebeeri n’atuma omubaka eri Eriya n’amugamba nti: “Bakatonda bambonereze nnyo era bongere ku kibonerezo kyange, singa enkya ekiseera nga kino kinaatuuka nga sinnakufuula nga buli omu ku abo be wasse!”  Eriya n’atya nnyo, n’asituka n’adduka awonye obulamu bwe.+ N’atuuka e Beeru-seba+ ekya Yuda,+ n’aleka eyo omuweereza we.  N’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’agenda n’atuula wansi w’akati, n’asaba afe. N’agamba nti: “Kimala! Kaakano Ai Yakuwa, ggyawo obulamu bwange,+ kubanga sisinga bajjajjange.”  N’agalamira ne yeebaka wansi w’akati. Naye malayika n’amukwatako+ n’amugamba nti: “Golokoka olye.”+  Bwe yatunula, n’alaba omugaati omwetooloovu nga guli ku mayinja agookya okumpi n’awaali omutwe gwe, era nga waliwo n’ensumbi y’amazzi. N’alya n’anywa n’addamu n’agalamira.  Oluvannyuma lw’ekiseera, malayika wa Yakuwa yakomawo n’amukwatako n’amugamba nti: “Golokoka olye, kubanga olugendo lw’ogenda okutambula luwanvu nnyo.”  N’agolokoka n’alya era n’anywa, amaanyi ge yafuna mu ebyo bye yalya ne gamusobozesa okutambula ennaku 40 emisana n’ekiro, okutuusa lwe yatuuka ku Kolebu, olusozi lwa Katonda ow’amazima.+  Ng’ali eyo, yayingira mu mpuku+ n’asula omwo; awo Yakuwa n’amugamba nti: “Okola ki wano Eriya?” 10  Eriya n’amuddamu nti: “Mbadde munyiikivu nnyo ku lwa Yakuwa Katonda ow’eggye;+ naye abantu b’omu Isirayiri bavudde ku ndagaano yo,+ bamenye ebyoto byo, basse bannabbi bo n’ekitala,+ era nze nzekka asigaddewo. Kaakano baagala okuggyawo obulamu bwange.”+ 11  Naye n’amugamba nti: “Fuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Yakuwa.” Era laba! Yakuwa yali ayitawo,+ era embuyaga ey’amaanyi ennyo yali eyabuluzaamu ensozi era ng’eyasa enjazi mu maaso ga Yakuwa,+ naye Yakuwa teyali mu mbuyaga. Oluvannyuma lw’embuyaga waaliwo musisi,+ naye Yakuwa teyali mu musisi. 12  Oluvannyuma lwa musisi waaliwo omuliro,+ naye Yakuwa teyali mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro waaliwo eddoboozi erya wansi era erikkakkamu.+ 13  Eriya olwaliwulira, ne yeebikka ekyambalo+ kye mu maaso n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku. Eddoboozi ne limubuuza nti: “Okola ki wano Eriya?” 14  Eriya n’addamu nti: “Mbadde munyiikivu nnyo ku lwa Yakuwa Katonda ow’eggye; naye abantu b’omu Isirayiri bavudde ku ndagaano yo,+ bamenye ebyoto byo, basse bannabbi bo n’ekitala, era nze nzekka asigaddewo. Kaakano baagala okuggyawo obulamu bwange.”+ 15  Yakuwa n’amugamba nti: “Ddayo, era genda mu ddungu ly’e Ddamasiko, bw’onootuuka, ofuke amafuta ku Kazayeeri+ abe kabaka wa Busuuli. 16  Ate era ojja kufuka amafuta ku Yeeku+ muzzukulu wa Nimusi abe kabaka wa Isirayiri, era ofuke amafuta ne ku Erisa* mutabani wa Safati ow’e Aberu-mekola abe nnabbi mu kifo kyo.+ 17  Oyo anaasimattuka ekitala kya Kazayeeri,+ Yeeku ajja kumutta;+ n’oyo anaasimattuka ekitala kya Yeeku, Erisa ajja kumutta.+ 18  Nkyalina abantu 7,000 mu Isirayiri,+ ng’abo be bantu bonna abatavunnamidde Bbaali+ era abatamunywegedde.”+ 19  Awo Eriya n’ava eyo n’asanga Erisa mutabani wa Safati ng’alimisa emigogo gy’ente 12 nga gimukulembeddemu, ye ng’ali n’ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda we yali n’amusuulako ekyambalo kye.+ 20  Erisa n’aleka awo ente, n’adduka okugoberera Eriya, n’amugamba nti: “Ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere.” Awo Eriya n’amugamba nti: “Ddayo; waliwo kye nkoze okukuziyiza?” 21  Erisa n’addayo n’addira ente bbiri n’aziwaayo nga ssaddaaka, n’akozesa ebintu bye yali alimisa okufumba ennyama yaazo, n’agigabula abantu ne balya. Oluvannyuma yayimuka n’agoberera Eriya n’atandika okumuweereza.+

Obugambo Obuli Wansi

Litegeeza, “Katonda Bwe Bulokozi.”