Isaaya 48:1-22

  • Isirayiri anenyezebwa era alongoosebwa (1-11)

  • Yakuwa ajja kubonereza Babulooni (12-16a)

  • Katonda by’ayigiriza bigasa (16b-19)

  • “Mufulume mu Babulooni!” (20-22)

48  Muwulire kino mmwe ennyumba ya Yakobo,Mmwe abeeyita erinnya lya Isirayiri+Era abaava mu lunyiriri lwa Yuda,*Mmwe abalayira mu linnya lya Yakuwa+Era abakoowoola Katonda wa Isirayiri,Wadde nga kino temukikola mu mazima na butuukirivu.+   Kubanga beeyita ba mu kibuga ekitukuvu+Era obwesige bwabwe babutadde mu Katonda wa Isirayiri,+Ayitibwa Yakuwa ow’eggye.   “Ebintu ebyasooka nnabikubuulira dda. Byava mu kamwa kange,Era nnabimanyisa.+ Nnabaako kye nkolawo mu bwangu ne bibaawo.+   Kubanga nnali nkimanyi nti oli muwaganyavu nnyo—Nti ebinywa by’ensingo yo biringa ekyuma, era nti n’ekyenyi kyo kiringa ekikomo+   Nnakubuulira dda. Nnakusobozesa okukiwulira nga tekinnabaawo,Oleme kugamba nti, ‘Ekifaananyi kyange kye kyakola kino;Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi kyange eky’ekyuma,* bye byalagira kino kibeewo.’   Bino byonna mwabiwulira era ne mubiraba. Temuubirangirire?+ Okuva kati nnangirira gye muli ebintu ebipya,+Ebyama ebibadde bikisiddwa, bye mubadde mutamanyi.   Bitondebwa kati, so tebyatondebwa dda,Ebintu by’obadde tonnawulira okutuusa leero,Oleme kugamba nti, ‘Mbadde mbimanyi!’   Mazima ddala tobiwulirangako,+ tobimanyi,Era edda amatu go tegaali maggule. Kubanga nkimanyi nti oli mukuusa,+Era obadde oyitibwa mukozi wa bibi okuva lwe wazaalibwa.+   Naye olw’erinnya lyange ndizibiikiriza obusungu bwange;+Olw’ettendo lyange ndyefuga,Ne sikuzikiriza.+ 10  Laba! Nkulongoosezza, naye si nga ffeeza bw’alongoosebwa.+ Nkugezesezza* mu kyoto mwe basaanuusiza ebyuma, kwe kugamba, mu kubonyaabonyezebwa.+ 11  Mazima ddala, olw’erinnya lyange ndibaako kye nkolawo,+Kubanga nnyinza ntya okuleka erinnya lyange okuvvoolwa?+ Ekitiibwa kyange sikiwa mulala.* 12  Ggwe Yakobo, era ggwe Isirayiri gwe nnayita, mpuliriza. Sikyuka.+ Nze ow’olubereberye era nze ow’oluvannyuma.+ 13  Omukono gwange gwe gwassaawo omusingi gw’ensi,+Era omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu.+ Bwe mbiyita, biyimirira wamu. 14  Mukuŋŋaane wamu mmwenna, muwulirize. Ani ku bo eyalangirira ebintu bino? Oyo nze Yakuwa gwe njagala.+ Alikola Babulooni kye njagala.+ Omukono gwe gulirwanyisa Abakaludaaya.+ 15  Nze nnayogera, era nze nnamuyita.+ Nze nnamuleeta, era alituuka ku buwanguzi.+ 16  Musembere we ndi, muwulire kino. Okuviira ddala ku lubereberye soogererangako mu kyama.+ Okuva lwe kyabaawo nnaliwo.” Era kati Yakuwa Mukama Afuga Byonna antumye, n’omwoyo gwe. 17  Bw’ati Yakuwa, Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri bw’agamba:+ “Nze Yakuwa, nze Katonda wo,Akuyigiriza osobole okuganyulwa,*+Akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.+ 18  Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange!+ Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga+ N’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.+ 19  Ezzadde lyo lijja kuba lingi ng’omusenyuNe bazzukulu bo bajja kuba ng’obuweke bwagwo.+ Erinnya lyabwe terijja kusangulwa oba kusaanawo mu maaso gange.” 20  Mufulume mu Babulooni!+ Mudduke Abakaludaaya! Mukyogereko n’essanyu! Mukirangirire!+ Mukimanyise ensi yonna.+ Mugambe nti: “Yakuwa anunudde Yakobo omuweereza we.+ 21  Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.+ Yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi;Yayasaamu olwazi amazzi ne gafubutukamu.”+ 22  Yakuwa agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mu mazzi ga Yuda.”
Oba, “ekisaanuuse.”
Oba, “Nkwekenneenyezza.” Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nkulonze.”
Oba, “Ekitiibwa kyange sikigabana na mulala yenna.”
Oba, “ku lw’obulungi bwo.”