Yobu 33:1-33

  • Eriku anenya Yobu olw’okweyita omutuukirivu (1-33)

    • Ekinunulo kizuuliddwa (24)

    • Okudda obuggya nga bwe yali mu buvubuka (25)

33  “Kaakano Yobu, wulira ebigambo byange;Wuliriza byonna bye ŋŋamba.   Laba! Nteekwa okwasamya akamwa kange;Olulimi lwange luteekwa okwogera.   Ebigambo byange birangirira obugolokofu bw’omutima gwange,+N’emimwa gyange gyogera mu bwesimbu bye mmanyi.   Omwoyo gwa Katonda gwe gwantonda,+Era omukka gw’Omuyinza w’Ebintu Byonna gwampa obulamu.+   Nziraamu bw’oba ng’osobola;Yanja ensonga zo mu maaso gange; weeteeketeeke okuwoza.   Laba! Nze nninga ggwe mu maaso ga Katonda;Nange nnabumbibwa mu ttaka.+   N’olwekyo tontya,Ebigambo byange tebijja kukuzitoowerera.   Mazima oyogedde nga mpulira,Mpulidde ng’ogamba nti,   ‘Ndi mulongoofu, tewali kibi kye nnakola;+Ndi mulongoofu, sirina nsobi gye nnakola.+ 10  Naye Katonda afuna ensonga kw’asinziira okunziyiza;Antwala ng’omulabe we.+ 11  Ateeka ebigere byange mu nvuba;Yekkaanya amakubo gange gonna.’+ 12  Naye toli mutuufu kwogera bw’otyo, n’olwekyo ka nkuddemu: Katonda asukkulumye ku bantu.+ 13  Lwaki omwemulugunyaako?+ Olw’okuba tazzeemu bigambo byo byonna?+ 14  Katonda ayogera enfunda n’enfunda,Naye tewali assaayo omwoyo, 15  Mu kirooto, mu kwolesebwa okw’ekiro,+Ng’abantu bali mu tulo otungi,Nga beebase ku bitanda byabwe. 16  Aggula amatu gaabwe,+N’awandiika by’abayigiriza mu mitima gyabwe, 17  Asobole okuggya omuntu ku bikolwa ebibi+Era amuziyize okuba n’amalala.+ 18  Katonda amuwonya okukka mu kinnya,*+N’okuttibwa n’ekitala.* 19  Era obulumi omuntu bw’aba nabwo ng’ali ku kitanda kye,N’okulumwa amagumba buli kiseera, bimukangavvula, 20  Ne yeetamwa* emmere,N’agaana n’okulya emmere ewooma.+ 21  Omubiri gumuggwaako,Amagumba agataalabikanga ne gakukunala. 22  Asemberera ekinnya,*Obulamu bwe busemberera abo abaagala okumutta. 23  Naye bw’afuna omubaka,*Amuwolereza omu mu lukumi,Okutegeeza omuntu ekituufu, 24  Katonda amukwatirwa ekisa n’agamba nti,‘Muwonye okukka mu kinnya!*+ Nzudde ekinunulo!+ 25  Omubiri gwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka;+Era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.’+ 26  Ajja kwegayirira Katonda+ amusaasire,Ajja kujaganya ng’alabye amaaso ga Katonda,Era Katonda obutuukirivu bwe ajja kuddamu abuwe omuntu. 27  Omuntu oyo aligamba abantu nti,‘Nnayonoona+ ne nkola ekitali kituufu,Naye saafuna ekyo ekyali kiŋŋwanira.* 28  Annunudde ne sikka mu kinnya,*+Era ndiraba ekitangaala.’ 29  Mu butuufu ebintu ebyo byonna Katonda abikolera omuntuEnfunda n’enfunda, 30  Okumuggya mu kinnya,*Ayakirwe ekitangaala eky’obulamu.+ 31  Ssaayo omwoyo Yobu! Mpuliriza! Sirika nneeyongere okwogera. 32  Bw’oba olina ky’ogamba, kiŋŋambe. Yogera kubanga njagala kukakasa obanga oli mutuufu. 33  Bw’oba tolina kya kwogera, mpuliriza;Sirika nkuyigirize ebintu eby’amagezi.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’eky’okulwanyisa.”
Oba, “ntaana.”
Obut., “Obulamu bwe ne bwetamwa.”
Oba, “entaana.”
Oba, “malayika.”
Oba, “ntaana.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era tekyangasa.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “ntaana.”