Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu

Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu

Adriana abeera mu Brazil agamba nti: “Nnawulira nga kimpitiriddeko ne ndowooza nti kyandisinzeeko singa nnetta.”

WALI owuliddeko obubi ennyo n’oba nga tokyayagala kuba mulamu? Bwe kiba bwe kityo, osobola okutegeera engeri Adriana gye yali awuliramu. Yeeraliikiriranga nnyo era yabanga munakuwavu buli kiseera. Bwe baamukebera baakizuula nti yalina obulwadde obw’okwennyamira.

Lowooza ne ku Kaoru abeera mu Japan eyali alabirira bazadde be abaali bakaddiye ate nga balwalalwala. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo, nnalina eby’okukola bingi nnyo ku mulimu. Ekiseera kyatuuka ne mba nga sikyayagala kulya era nga sikyebaka. Nnatuuka n’okulowooza nti singa nfa kyandisinzeeko.”

Ate ye Ojebode abeera mu Nigeria agamba nti: “Buli kiseera nnabanga mwennyamivu nnyo ne ntuuka n’okukaaba amaziga. Emirundi mingi, nnalowooza ku ky’okuggyawo obulamu bwange.” Eky’essanyu, Ojebode, Kaoru, ne Adriana tebetta. Naye buli mwaka abantu nkumi na nkumi betta.

WA W’OYINZA OKUFUNA OBUYAMBI?

Abantu abasinga obungi abetta baba basajja, era abasinga obungi ku bo baba balowooza nti kiswaza okusaba obuyambi. Yesu yagamba nti abalwadde be beetaaga omusawo. (Lukka 5:31) N’olwekyo, bw’obeera omwennyamivu totya kusaba buyambi. Abantu bangi abalina obulwadde obw’okwennyamira bafunye obujjanjabi ne kibayamba okufuna ku buweerero. Ojebode, Kaoru, ne Adriana baafuna obujjanjabi era kati bali bulungiko.

Bw’obeera omwennyamivu, abasawo basobola okukuwa eddagala, okwogera naawe oba okukola byombi ne bakuyamba. Ate era abo abalina obulwadde obw’okwennyamira baba beetaaga okufiibwako ennyo ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe. Naye ow’omukwano asingayo asobola okukuyamba ye Yakuwa Katonda, era asobola okukuyamba ng’akozesa Ekigambo kye Bayibuli.

WALIWO EKISOBOLA OKUMALIRAWO DDALA EKIZIBU KY’OKWENNYAMIRA?

Abo abalina obulwadde bw’okwennyamira baba beetaaga okubeera ku ddagala okumala ekiseera kiwanvu n’okumanya bye bayinza okukola okusobola okugumira embeera eyo. Naye bw’oba olina ekizibu ky’okwennyamira, essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso lisobola okukubudaabuda nga bwe lyabudaabuda Ojebode. Agamba nti: “Nneesunga ekiseera ebigambo ebiri mu Isaaya 33:24 lwe birituukira. Bigamba nti: Tewaliba muntu mu nsi aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’” Naawe bw’onoofumiitiriza ku kisuubizo kya Katonda ‘eky’ensi empya’ omutaliba ‘bulumi,’ ojja kubudaabudibwa. (Okubikkulirwa 21:1, 4) Ekisuubizo ekyo bwe kinaatuukirira, obulumi bw’owulira kati ‘tolibujjukira era tebulisigala mu mutima gwo.’​—Isaaya 65:17.