Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA​—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?

Bamalayika Basobola Okukuyamba?

Bamalayika Basobola Okukuyamba?

Lumu Kenneth ne Filomena, ababeera mu Curacao, baagenda okulaba omwami n’omukyala be baali bayigiriza Bayibuli.

Kenneth agamba nti: “Bwe twatuukayo, twasanga ennyumba nzigale era nga n’emmotoka yaabwe teriiwo. Naye nnafuna ekirowoozo eky’okukubira omukyala essimu.”

Omukyala yakwata essimu n’agamba nti omwami we yali akyali ku mulimu. Bwe yakitegeera nti Kenneth ne Filomena baali bazze okubalaba, yaggulawo mangu oluggi n’abagamba bayingire.

Bwe baamulaba baakitegeererawo nti abadde akaaba. Kenneth bwe yali asaba nga bagenda okutandika okuyiga Bayibuli, omukyala oyo yaddamu n’akaaba era Kenneth ne Filomena ne bamubuuza kye yali abadde.

Yabagamba nti yali agenda kwetta, era nti we baakubira essimu yali awandiikira omwami we akabaluwa amusiibule. Era yabagamba nti yalina obulwadde obw’okwennyamira. Baamusomera ebyawandiikibwa ebyamuzzaamu amaanyi, era ekyo kyawonya obulamu bwe.

Kenneth agamba nti: “Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutukozesa okuyamba omukyala oyo. Oboolyawo Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu oba omu ku bamalayika be okutuleetera okukubira omukyala oyo essimu.” *

Kenneth ne Filomena batuufu okulowooza nti Katonda ye yakozesa omwoyo gwe omutukuvu oba malayika okubaleetera okukola ekintu ekyawonya obulamu bw’omukyala oyo?

Tetumanyi obanga bwe kityo bwe kyali, naye kye tumanyi kiri nti Katonda akozesa bamalayika be okuyamba abantu mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Katonda yakozesa malayika we okulagirira Firipo eri omusajja Omwesiyopiya eyali ayagala okutegeera bye yali asoma mu Byawandiikibwa.​—Ebikolwa 8:26-31.

Amadiini agamu gayigiriza nti waliwo ebitonde eby’omwoyo Katonda by’akozesa ng’ababaka be, ate amalala gayigiriza nti buli muntu alina malayika we amukuuma. Abantu bangi bakkiriza nti bamalayika gyebali era nti babayamba. Kyokka abalala tebakkiriza nti bamalayika gyebali.

Ddala bamalayika gyebali? Bwe baba nga gyebali, baava wa? Bayibuli eboogerako ki? Bye bakola bitukwatako? Ka tulabe

^ lup. 8 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.