Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Yesu bwe yageraageranya omukazi Omuyonaani ku ‘bubwa obuto,’ yali amuvuma?

Ekibumbe ekyakolebwa Abayonaani oba Abaruumi ekiraga omwana ng’azannya n’akabwa (kyakolebwa wakati w’ekyasa 1 E.E.T. ne 2 E.E.)

Lumu Yesu bwe yali mu ssaza ly’Abaruumi ery’e Busuuli, Omukazi Omuyonaani yagenda we yali n’amusaba awonye muwala we. Mu bigambo Yesu bye yakozesa ng’addamu omukazi oyo, yageraageranya abantu abataali Bayudaaya ku ‘bubwa obuto.’ Okusinziira ku mateeka Katonda ge yawa Musa, embwa tezaali nnongoofu. (Eby’Abaleevi 11:27) Naye mu kukozesa ebigambo ebyo Yesu yali avuma omukazi oyo n’abantu abalala abataali Bayudaaya?

Nedda. Okusinziira ku ngeri Yesu gye yannyonnyolamu abayigirizwa be, ekintu kye yalina okukulembeza mu kiseera ekyo kwe kuyamba Abayudaaya. Okusobola okuyamba omukazi oyo Omuyonaani okutegeera ensonga eyo, yamugamba nti: “Tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” (Matayo 15:21-26; Makko 7:26) Abayonaani n’Abaruumi baali baagala nnyo embwa. Baabanga nazo mu maka gaabwe, era abaana baabwe baazannyanga nazo. N’olwekyo, ebigambo “obubwa obuto” byali tebiwa kifaananyi kibi. Omukazi Omuyonaani teyanyiiga, wabula yaddamu Yesu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu yasiima omukazi oyo olw’okwoleka okukkiriza, era n’awonya muwala we.—Matayo 15:27, 28.

Amagezi omutume Pawulo ge yawa abo be yali nabo mu kyombo gaali malungi?

Ekyombo ekyasaabazanga ebyamaguzi (kya mu kyasa ekyasooka E.E.)

Ekyombo ekyali kitwala Pawulo e Yitale kyazibuwalirwa okweyongerayo olw’omuyaga ogw’amaanyi. Pawulo yawa abaali naye mu kyombo amagezi nti olugendo basooke baluyimirize. (Ebikolwa 27:9-12) Amagezi ago gaali malungi?

Abalunnyanja baali bakimanyi nti kyali kya bulabe okusaabala ku Nnyanja Meditereniyani mu kiseera eky’obutiti. Abantu tebaasaabalanga ku nnyanja eyo wakati w’omwezi gwa Noovemba ne Maaki. Kyokka olugendo Pawulo lwe yali ayogerako lwali lwa kubaawo wakati wa Ssebutemba ne Okitobba. Mu kitabo kye ekiyitibwa Epitome of Military Science, Vegetius, omuwandiisi w’ebitabo Omuruumi yagamba nti: “Mu myezi egimu kyabanga kyangu okusaabala ku nnyanja eyo, emirala kyabanga kizibu, ate ng’emirala tekisobokera ddala.” Vegetius yagamba nti okuva nga Maayi 27 okutuuka Ssebutemba 14 kyali kiseera kirungi okusaabalirako, naye wakati wa Ssebutemba 15 okutuuka Noovemba 11, era n’okuva Maaki 11 okutuuka Maayi 11, kyabanga kya bulabe nnyo. Omutume Pawulo yasaabalanga ku nnyanja, era ebyo yali abimanyi bulungi. Omugoba w’ekyombo ne nnannyini kyo nabo baali babimanyi, naye tebaawuliriza Pawulo. N’ekyavaamu, ekyombo kyabwe kyamenyekamenyeka.​—Ebikolwa 27:13-44.