Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46

Olabirira Bulungi ‘Engabo Yo Ennene ey’Okukkiriza’?

Olabirira Bulungi ‘Engabo Yo Ennene ey’Okukkiriza’?

“Mukwate engabo ennene ey’okukkiriza.”​—BEF. 6:16.

OLUYIMBA 119 Tulina Okuba n’Okukkiriza

OMULAMWA *

1-2. (a) Okusinziira ku Abeefeso 6:16, lwaki twetaaga “engabo ennene ey’okukkiriza”? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

OLINA “engabo ennene ey’okukkiriza”? (Soma Abeefeso 6:16.) Oteekwa okuba ng’ogirina. Okufaananako engabo ennene ebikka ebitundu bingi eby’omubiri, okukkiriza kwo kukukuuma n’ototwalirizibwa bikolwa bya bugwenyufu, bikolwa bya bukambwe, n’ebikolwa ebirala ebibi ebiri mu nsi ya Sitaani.

2 Naye olw’okuba tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okugezesebwa. (2 Tim. 3:1) Oyinza otya okukebera engabo yo ey’okukkiriza okukakasa nti ŋŋumu bulungi? Era oyinza otya okukuuma okukkiriza kwo nga kunywevu? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino.

KEBERA N’OBWEGENDEREZA ENGABO YO

Oluvannyuma lw’olutalo, abasirikale baakakasanga nti engabo zaabwe ziddaabirizibwa (Laba akatundu 3)

3. Kiki abasirikale kye baakolanga engabo zaabwe, era lwaki?

3 Mu biseera by’edda, abasirikale baateranga okuba n’engabo ezaabanga zibikiddwako eddiba. Abasirikale baasiiganga amafuta ku ngabo ezo okusobola okukuuma eddiba eryo n’okukuuma ekitundu kyazo eky’ekyuma kireme okutalagga. Omusirikale bwe yakizuulanga nti engabo ye eriko awoonoonese, yakakasanga nti agiddaabiriza asobole okuba nga buli kiseera mwetegefu okulwana olutalo. Ekyokulabirako ekyo kikwata kitya ku kukkiriza kwo?

4. Lwaki osaanidde okukebera engabo yo ey’okukkiriza, era ekyo oyinza kukikola otya?

4 Okufaananako abasirikale ab’omu biseera eby’edda, olina okukeberanga engabo yo ey’okukkiriza n’okugiddaabiriza, obe nga buli kiseera oli mwetegefu okulwana. Abakristaayo tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo, era abalabe baffe bazingiramu n’emyoyo emibi. (Bef. 6:10-12) Tewali n’omu ayinza kukukuumira ngabo yo ey’okukkiriza. Oyinza otya okuba omukakafu nti ojja kwoleka okukkiriza okunywevu ng’oyolekaganye n’ebigezo? Ekisooka, olina okusaba Katonda akuyambe. Eky’okubiri, olina okukozesa Ekigambo kya Katonda okwetunuulira nga Katonda bw’akutunuulira. (Beb. 4:12) Bayibuli egamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo.” (Nge. 3:5, 6) Ng’olina ekyo mu birowoozo, lwaki toddamu n’olowooza ku bintu bye wasalawo gye buvuddeko awo? Ng’ekyokulabirako, wayolekagana n’obuzibu mu by’enfuna? Wajjukira ekisuubizo kya Yakuwa ekiri mu Abebbulaniya 13:5 awagamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira”? Ekisuubizo ekyo kyakuleetera okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba? Bwe kiba kityo, ekyo kiraga nti engabo yo ey’okukkiriza ogikuuma ng’eri mu mbeera nnungi.

5. Bw’okebera okukkiriza kwo, kiki ky’oyinza okuzuula?

5 Bw’okebera obulungi okukkiriza kwo, by’ozuula biyinza okukwewuunyisa. Oyinza okuzuula obunafu bw’obadde obuusa amaaso. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukizuula nti okweraliikirira ekiteetaagisa, obulimba, n’ebintu ebimalamu amaanyi binafuyizza okukkiriza kwo. Ekyo bwe kiba nga kikutuuseeko, oyinza otya okukuuma okukkiriza kwo ne kuteeyongera kwonooneka?

WEEKUUME OKWERALIIKIRIRA EKITEETAAGISA, OBULIMBA, N’EBINTU EBIMALAMU AMAANYI

6. Waayo ebyokulabirako eby’okweraliikirira okulungi?

6 Okweraliikirira okumu kulungi. Ng’ekyokulabirako, kiba kirungi okweraliikirira oba okufaayo okusanyusa Yakuwa ne Yesu. (1 Kol. 7:32) Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tweraliikirira era tuba twagala okuzzaawo enkolagana yaffe ne Katonda. (Zab. 38:18) Era tweraliikirira oba tufaayo ku munnaffe mu bufumbo, ku b’omu maka gaffe, ne ku bakkiriza bannaffe.​—1 Kol. 7:33; 2 Kol. 11:28.

7. Okusinziira ku Engero 29:25, lwaki tetusaanidde kutya bantu?

7 Ku luuyi olulala, okweraliikirira ekiteetaagisa kisobola okwonoona okukkiriza kwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga buli kiseera tweraliikirira obanga tunaafuna emmere emala oba eby’okwambala. (Mat. 6:31, 32) Ekyo kiyinza okutuleetera okwemalira ku kunoonya ebintu. Tuyinza n’okutandika okwagala ennyo ssente. Ekyo bwe tukikkiriza okututuukako, okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa kusobola okunafuwa ne kireetera enkolagana yaffe naye okwonooneka. (Mak. 4:19; 1 Tim. 6:10) Ate era tuyinza okutandika okweraliikirira ennyo ekyo abalala kye batulowoozaako. Ekyo kiyinza okutuviirako okutya okusekererwa oba okuyigganyizibwa abantu okusinga okutya okunyiiza Yakuwa. Okusobola okwekuuma obutagwa mu katego ako, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe okukkiriza n’obuvumu bye twetaaga tuleme kutya bantu.​—Soma Engero 29:25; Luk. 17:5.

(Laba akatundu 8) *

8. Kiki kye tusaanidde okukola nga waliwo asaasaanya obulimba?

8 Sitaani, “kitaawe w’obulimba,” akozesa abo abali wansi w’obuyinza bwe okusaasaanya eby’obulimba ku Yakuwa ne kuba baganda baffe. (Yok. 8:44) Ng’ekyokulabirako, nga bakozesa Intaneeti, ttivi, n’emikutu gy’empuliziganya emirala, bakyewaggula boogera ebintu eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa. Obulimba obwo bwe bumu ku ‘busaale bwa Sitaani obw’omuliro.’ (Bef. 6:16) Kiki kye tusaanidde okukola singa omuntu atandika okutubuulira ebintu eby’obulimba? Tetumuwuliriza! Lwaki? Kubanga twesiga Yakuwa ne baganda baffe. Mu butuufu, twewalira ddala bakyewaggula. Tetukkiriza muntu yenna oba kintu kyonna, kutuleetera kuwuliziganya na bakyewaggula.

9. Ebintu ebimalamu amaanyi biyinza kutukolako ki?

9 Ebintu ebimalamu amaanyi bisobola okunafuya okukkiriza kwaffe. Tetusobola kubuusa maaso bizibu bye twolekagana nabyo. Mu butuufu ekyo tekiba kya buvunaanyizibwa. N’olwekyo, ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Naye tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku bizibu bye twolekagana nabyo. Bwe tukola tutyo, tuyinza okwerabira ebintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza. (Kub. 21:3, 4) Tuyinza okuggwaamu amaanyi ne tutuuka n’okulekera awo okuweereza Yakuwa. (Nge. 24:10) Naye ekyo tetusaanidde kukikkiriza kututuukako.

10. Biki by’oyigira ku bbaluwa mwannyinaffe omu gye yawandiika?

10 Lowooza ku ngeri mwannyinaffe omu mu Amerika alina omwami we alina obulwadde obw’amaanyi gy’akuumamu okukkiriza kwe nga kunywevu. Mu bbaluwa gye yawandiikira ekitebe kyaffe ekikulu, yagamba nti: “Embeera yaffe tebadde nnyangu era oluusi etumalamu amaanyi, naye essuubi lyaffe linywevu. Nsiima nnyo ebintu byonna Yakuwa by’atuwa okunyweza okukkiriza kwaffe n’okutuzzaamu amaanyi. Twetaaga nnyo ebintu ebyo. Bituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’okugumira ebigezo Sitaani by’atuleetera.” Ebigambo ebyo mwannyinaffe oyo bye yayogera bituyamba okukiraba nti tusobola okwaŋŋanga ebintu ebitumalamu amaanyi! Mu ngeri ki? Bw’ofuna ebigezo, kitwale nti Sitaani akugezesa. Weesige Yakuwa nti ajja kukubudaabuda era siima emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa.

Okuuma ‘engabo yo ennene ey’okukkiriza’? (Laba akatundu 11) *

11. Okusobola okumanya obanga okukkiriza kwaffe kunywevu, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

11 Olina w’olaba ku ngabo yo ey’okukkiriza aweetaaga okuddaabirizibwa? Mu myezi egiyise, osobodde okwewala okweraliikirira ekiteetaagisa? Weewaze okuwuliriza oba okuwakana ne bakyewaggula? Osobodde okwaŋŋanga ebintu ebimalamu amaanyi? Bwe kiba kityo, okukkiriza kwo kuli mu mbeera nnungi. Naye tulina okusigala nga tuli bulindaala kubanga Sitaani alina eby’okulwanyisa ebirala by’akozesa okutulwanyisa. Ka tulabeyo ekimu ku byo.

WEEWALE OMWOYO OGW’OKWAGALA EBINTU

12. Okwagala ebintu kuyinza kutukolako ki?

12 Okwagala ebintu kusobola okutuwugula ne tulagajjalira engabo yaffe ey’okukkiriza. Omutume Pawulo yagamba nti: “Tewali muntu aweereza ng’omusirikale ayinza okwenyigira mu by’obusuubuzi asobole okusiimibwa oyo eyamuwandiika mu busirikale.” (2 Tim. 2:4) Mu butuufu, abasirikale Abaruumi tebakkirizibwanga kwenyigira mu busuubuzi obw’engeri yonna. Kiki ekyali kiyinza okubaawo singa omusirikale yeenyigiranga mu by’obusuubuzi?

13. Lwaki omusirikale yali talina kwenyigira mu bya busuubuzi?

13 Lowooza ku mbeera eno. Ekibinja ky’abasirikale kimala amakya gonna nga kitendekebwa engeri y’okukozesaamu ebitala, naye omu ku bo taliiwo. Omusirikale oyo ali mu kibuga ateekateeka mudaala gwa kutundirako mmere. Olweggulo, abasirikale abo balumala bakebera eby’okulwanyisa byabwe era nga bawagala ebitala byabwe. Naye omusirikale alina omudaala gw’emmere, ebiseera ebyo abimala ateekateeka emmere gy’anaatunda enkeera. Kyokka enkeera ku makya, omulabe abazinduukiriza. Musirikale ki anaasobola okulwana obulungi era ajja okusanyusa omuduumizi we? Era musirikale ki gwe wandyagadde akuliraane mu lutalo olwo? Oyo eyeeteeseteese obulungi oba oli eyawuguliddwa?

14. Ffe abasirikale ba Kristo, kiki kye tutwala nga kikulu?

14 Okufaananako abasirikale abalungi, tetukkiriza kintu kyonna kutuwugula kuva ku kiruubirirwa kyaffe ekikulu eky’okusiimibwa abaduumizi baffe abakulu, Yakuwa ne Kristo. Ekyo tukitwala nga kikulu nnyo okusinga ekintu kyonna ensi ya Sitaani ky’eyinza okutuwa. Tufuba okulaba nti tulina ebiseera n’amaanyi bye twetaaga okuweereza Yakuwa n’okukuuma engabo yaffe ey’okukkiriza awamu n’eby’okulwanyisa ebirala eby’omwoyo nga biri mu mbeera nnungi.

15. Kulabula ki Pawulo kwe yatuwa, era lwaki?

15 Buli kiseera tulina okuba obulindaala! Lwaki? Omutume Pawulo yagamba nti: “Abo abamaliridde okugaggawala” bajja ‘kukyamizibwa bave mu kukkiriza.’ (1 Tim. 6:9, 10) Ekigambo “okukyamizibwa” kiraga nti tusobola okuwugulibwa nga tugezaako okufuna ebintu ebiteetaagisa. Ekyo kiyinza okutuviirako okufuna “okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi.” Mu kifo ky’okukkiriza okwegomba okwo okukula mu mitima gyaffe, tusaanidde okukutwala nti kye kimu ku by’okulwanyisa Sitaani by’akozesa ng’agezaako okunafuya okukkiriza kwaffe.

16. Ebyo bye tusoma mu Makko 10:17-22 bisaanidde kutuleetera kwebuuza bibuuzo ki?

16 Watya singa tulina ssente nga tusobola okugula ebintu bingi. Kiba kikyamu okugula ebintu bye twagala naye nga tetubyetaaga? Tekiba kikyamu. Naye lowooza ku bibuuzo bino: Ne bwe tuba nga tusobola okugula ekintu, ddala tulina ebiseera n’amaanyi okukozesa ekintu ekyo n’okukirabirira? Ate era kyandiba nti tuyinza okutandika okwagala ennyo ebintu bye tulina? Okwagala ennyo ebintu kuyinza okutuleetera okweyisa ng’omusajja Yesu gwe yagamba okwongera okugaziya ku buweereza bwe eri Katonda naye n’agaana? (Soma Makko 10:17-22.) Nga kiba kirungi obutaba na bintu bingi nnyo, ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe ne tubimalira ku kukola Katonda by’ayagala!

NYWEZA ENGABO YO EY’OKUKKIRIZA

17. Kiki kye tutalina kwerabira?

17 Tetulina kukyerabira nti tuli mu lutalo, era buli lunaku tulina okuba abeetegefu okulwana. (Kub. 12:17) Bakkiriza bannaffe tebasobola kutukwatira ngabo zaffe ez’okukkiriza. Buli omu ku ffe alina okwekwatira engabo ye n’aginyweza.

18. Lwaki abasirikale mu biseera by’edda baafubanga okunyweza engabo zaabwe?

18 Mu biseera by’edda, omusirikale bwe yayolekanga obuvumu mu lutalo, yaweebwanga ekitiibwa. Naye kyabanga kya buswavu nnyo omusirikale okudda eka nga talina ngabo ye. Munnabyafaayo Omuruumi ayitibwa Tacitus yawandiika nti: “Omusirikale bw’ataakomangawo na ngabo ye, kyamuswazanga nnyo.” Eyo ye nsonga lwaki abasirikale baafubanga okunyweza engabo zaabwe.

Mwannyinaffe anyweza engabo ye ennene ey’okukkiriza ng’asoma Ekigambo kya Katonda, ng’abaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era nga yeenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira (Laba akatundu 19)

19. Tuyinza tutya okunyweza engabo yaffe ey’okukkiriza?

19 Tunyweza engabo zaffe ez’okukkiriza nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa era nga tubuulirako abalala ebikwata ku linnya lya Yakuwa ne ku Bwakabaka bwe. (Beb. 10:23-25) Ate era tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era ne tusaba Yakuwa atuyambe okukolera ku bulagirizi obukirimu mu buli kimu kye tukola. (2 Tim. 3:16, 17) Bwe tukola tutyo, tewali kya kulwanyisa kyonna Sitaani ky’akozesa kutulwanyisa kiyinza kutuleetako kabi ka lubeerera. (Is. 54:17) ‘Engabo yaffe ennene ey’okukkiriza’ ejja kutukuuma. Tujja kusobola okweyongera okukolera awamu ne bakkiriza bannaffe. Era ng’oggyeeko okuwangula entalo ze tulwana buli lunaku, tujja kufuna enkizo ey’okuba ku ludda lwa Yesu, bw’anaaba awangula Sitaani n’abagoberezi be.​—Kub. 17:14; 20:10.

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

^ lup. 5 Abasirikale beetaaganga nnyo engabo okusobola okubakuuma ne batatuusibwako kabi. Okukkiriza kwaffe kulinga engabo. Era okufaananako engabo, okukkiriza kwaffe tulina okukulabirira obulungi. Ekitundu kino kiraga bye tuyinza okukola okusobola okukuuma ‘engabo zaffe ennene ez’okukkiriza’ nga ziri mu mbeera nnungi.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Ebintu ebikwata ku bakyewaggula aboogera eby’obulimba ku bantu ba Yakuwa bwe biragibwa ku ttivi, ab’omu maka Abajulirwa ba Yakuwa bagiggyako mangu.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Oluvannyuma nga bali mu kusinza kw’amaka, taata akozesa Bayibuli okunyweza okukkiriza kw’ab’omu maka ge.