Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ka Nneeyongere Nnyweko Katono”

“Ka Nneeyongere Nnyweko Katono”

“Ka Nneeyongere Nnyweko Katono”

ALLEN yatandika okwekamirira omwenge ng’alina emyaka 11 egy’obukulu. * Ye ne mikwano gye baazannyiranga mu kibira nga bagezaako okukoppa abo be baalabanga mu firimu. Abo be baali bakoppa baali bazannya buzannyi firimu, naye omwenge Allen ne mikwano gye gwe baanywanga gwali mwenge gwennyini.

Tony yali aweza emyaka 40 we yatandikira okwongera ku bungi bw’omwenge gwe yanywanga era yatuuka n’okuba nga takyamanyi bungi bwa mwenge gwe yanywanga buli lunaku.

Allen yanoonya obuyambi okusobola okuvvuunuka ekizibu kye yalina eky’okwekamirira omwenge. Tony ye yagaana obuyambi obwamuweebwa ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye abaali bamufaako. Allen atubuulira ebyafaayo bye kubanga akyali mulamu; Tony ye yafiira mu kabenje k’emmotoka emyaka mingi emabega olw’okuba yali atamidde.

Ne bwe kiba nti omuntu omu y’aba anywedde omwenge omungi, ebivaamu bikosa obulamu bw’abalala, era bitera okuba eby’akabi ennyo. * Okunywa ennyo omwenge kitera okuviirako abantu okwogera obubi, okulwana, okwenyigira mu bikolwa eby’ettemu, okugwa ku bubenje bw’ebidduka n’okufuna obuvune ku mirimu, awamu n’ebizibu ebirala bingi. Buli mwaka, abantu basaasaanya ssente nnyingi nnyo ku mwenge, era bo bennyini n’ab’omu maka gaabwe bakosebwa mu nneewulira.

Wadde kiri kityo, ekitongole ky’omu Amerika ekiyitibwa National Institutes of Health kigamba nti ‘tekiri nti buli muntu anywa omwenge buli lunaku nti aba agunywa nnyo, era nti si bonna abanywa ennyo omwenge nti bagunywa buli lunaku.’ Abantu bangi abaali tebanywa nnyo mwenge bagenze okwejjuukiriza nga bafuuse ba lujuuju. Abamu tebatera kunywa mwenge naye lwe baba bagunywedde banywera ddala mungi nnyo.

Singa osalawo okunywa omwenge, wandinywedde gwenkana wa? Omanya otya nti gw’onywedde gumala? (Engero 23:29, 30) Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku bintu ebiyinza okutuyamba ebikwata ku nsonga eno.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Olw’okuba abasajja be basinga okunywa ennyo omwenge, ekitundu kino kyogera nnyo ku basajja naye ng’ebikirimu bikwata ne ku bakazi.