Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Okutuusa Okufa Lwe Kulitwawukanya”

“Okutuusa Okufa Lwe Kulitwawukanya”

“Okutuusa Okufa Lwe Kulitwawukanya”

ABAFUMBO bameka abaddiŋŋanye ebigambo ebyo n’essanyu ku lunaku lwabwe olw’embaga​—oboolyawo nga tebakirowoozezzaako nti ekiseera kiyinza okutuuka okufa ne kubaawukanya? Okukaddiwa, obulwadde, oba obubenje bye bintu ebitera okubaawo ebisobola okutta omwagalwa n’aleka munne mu kiwuubaalo n’ennaku ey’amaanyi.​—Omubuulizi 9:11; Abaruumi 5:12.

Lipoota ekwata ku kubala abantu eraga nti abakazi kimu kya kubiri abali mu myaka 65 n’okusingawo bannamwandu. Okuva bwe kiri nti abakazi be basinga okufiirwako bannaabwe mu bufumbo, abantu abasinga obungi bakitwala ng’ekituuka ku bakazi bokka. Kino tekitegeeza nti abasajja bo tebafiirwa. Ekituufu kiri nti obukadde n’obukadde bw’abantu bafiiriddwako bannaabwe mu bufumbo. Wandiba nga naawe oli omu ku abo?

Bw’oba mwami oba mukyala, ng’oli mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Baibuli esobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera eyo enzibu? Bassemwandu ne bannamwandu abamu basobodde batya okwaŋŋanga embeera eyo enzibu? Wadde nga tewaliiwo ngeri emu yokka esobola okuyamba abantu bonna abali mu mbeera eyo, waliwo emisingi egiri mu Baibuli n’amagezi ebisobola okubayamba.

Okwaŋŋanga Ekizibu ky’Okufiirwa

Newakubadde ng’abamu balowooza nti okukaaba kabonero akalaga obunafu oba nti kya bulabe, omusawo eyeekenneenya ebikwata ku nneeyisa y’abantu ayitibwa Dr. Joyce Brothers, nga naye yennyini nnamwandu agamba nti, okukaaba kufaananako obujjanjabi obusookerwako omuntu bw’ayinza okufuna ne bukendeeza ku bulumi bw’aba nabwo ng’afiiriddwa. Mu butuufu kya bulijjo omuntu okukaaba ng’anyoleddwa, era ekyo kikendeeza ku bulumi bw’aba nabwo. Tokwatibwa nsonyi kukaaba. Mu Baibuli mulimu ekyokulabirako ekirungi ekikwata ku nsonga eno. Ibulayimu yali musajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi era yafuna enkizo ey’okuyitibwa mukwano gwa Katonda. Wadde kyali kityo, mukyala we omwagalwa Saala bwe yafa, ‘yamukungubagira era n’amukaabira.’​—Olubereberye 23:2.

Wadde ng’oyinza okwagala okubeerako wekka okumala akaseera, teweeyawula ku balala. Engero 18:1 lutulabula: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka.” Mu kifo kyekyo, fuba okubeera okumpi n’abeŋŋanda zo ne mikwano gyo abakulumirirwa. Ekiyinza okutuyamba mu nsonga eno kye kibiina Ekikristaayo, omuli abasajja abakuze mu by’omwoyo abasobola okutuyamba n’okutuwa amagezi ge twetaaga.​—Isaaya 32:1, 2.

Abamu bakisanze nga kya muganyulo okuddamu ebbaluwa oba kaadi ezibakubagiza. Kino kiyinza okukusobozesa okuwandiika ebirungi by’ojjukira ku munno era n’ebintu ebisanyusa bye mubadde mukolera awamu. Okukola ekitabo ekirimu ebifaananyi, amabaluwa, n’ebirala by’oyinza okumujjukirirako kiyinza okukuyamba okutereera.

Kya bulijjo omuntu eyaakafiirwa okuwulira ng’atabuddwatabuddwa era ng’atamanyi kya kukola, naye okusigala ng’okola emirimu gyo nga bulijjo kijja kukuyamba. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’olina essaawa ez’enkalakkalira ze weebakirako, z’ozuukukirako, z’oliirako, oba z’okolerako emirimu egimu, weeyongere okukola bw’otyo. Teekateeka nga bukyali ky’onookola ng’ebirowoozo bikuyitiriddeko gamba nga ku wiikendi ne ku nnaku ez’enjawulo gamba ng’olwo lwe mwafumbiriganwako. N’ekisinga obukulu, nywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo.​—1 Abakkolinso 15:58.

Omuntu ayinza okusalawo obubi bw’aba mu nnaku ey’amaanyi. Oboolyawo abantu abalina ebiruubirirwa ebikyamu bayinza okweyambisa embeera gy’olimu okubaako bye beefunira. N’olwekyo, toyanguyiriza kusalawo ku nsonga ezimu gamba ng’okutunda ennyumba yo, okutandika bizineesi, okusenguka, oba okuddamu okuyingira obufumbo. Olugero olw’amagezi lugamba: “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bulungi bwereere naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.” (Engero 21:5) Bw’oba wa kukola nkyukakyuka ng’ezo ez’amaanyi osaanidde okulindako okutuusiza ddala ng’ebirowoozo byo biteredde.

Okukola ku nsonga ezikwata ku bintu munno afudde by’alese kiyinza okukuleetera okunakuwala naddala singa muba mumaze emyaka mingi nga muli wamu, naye kino kye kimu ku bintu ebikolebwa ng’omuntu afiiriddwa. Naye bw’otabikolako mangu kiyinza okutwalira ekiseera kiwanvu ng’okyali munakuwavu. (Zabbuli 6:6) Abamu basalawo okubyekolerako bokka, naye abalala bakisanze nga kya muganyulo okubuulirako mikwano gyabwe egy’okulusegere ebikwata ku nsonga ezo. Oyinza okwagala mukwano gwo oba omuntu akulinako oluganda akuyambeko okukola ku biwandiiko gamba, ng’okufuna ebbaluwa ennyonnyola okufa kw’omuntu wo; okutegeeza banka; okukyusa ebiwandiiko ebiraga obwannannyini ku bintu; n’okusasula ebisale by’eddwaliro.

Jjukira nti tuli mu nsi engwenyufu. Era olw’okuba kati oli wekka, kiyinza obutakubeerera kyangu kwewala bikolwa eby’obugwenyufu. Ebigambo by’omutume Pawulo bituukagana bulungi n’embeera eriwo kati: “Buli omu ku mmwe amanye engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa, nga temululunkanira bikolwa bya nsonyi ng’amawanga agatamanyi Katonda bwe gakola.” (1 Abassessaloniika 4:4, 5) N’olwekyo, kya magezi okwewala firimu, ebitabo, n’ennyimba ebisiikuula okwetaba.

N’ekisinga byonna, kimanye nti kitwala ekiseera okutereerera ddala. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa USA Today lugamba nti okunoonyereza okukoleddwa Yunivasite y’e Michigan enoonyereza ku mbeera z’abantu kulaga nti oyo aba afiiriddwa munne mu bufumbo aba yeetaaga waakiri emyezi 18 okusobola okutereera obulungi. Saba Katonda akuyambe okugumiikiriza, nga kino kye kimu kw’ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo gwe. (Abaggalatiya 5:22, 23) Wadde ng’oyinza obutakirowoozaako kati, buli lunaku oluyitawo ojja kugenda otereera mpola mpola.

Engeri Abamu gye Basobodde Okwaŋŋanga Embeera

Anna, abadde mu bufumbo obw’essanyu okumala emyaka 40, gye buvuddeko awo yafuna ekyekango eky’okufiirwa omwami we. Agamba nti: “Nnafiirwa maama wange nga nkyali wa myaka 13, oluvannyuma taata wange, bannyinaze babiri, ne muganda wange omu nabo baafa. Naye mu butuufu nnyinza okugamba nti okufa kwabwe tekwampisa bubi nnyo ng’okw’omwami wange. Nnawulira nga gwe batemyemu ebitundu bibiri era nnalina obulumi obw’amaanyi.” Kiki ekimuyambye okugumira obulumi? “Nkoze ekitabo ekinene omuli obubaka ne kaadi ezirimu ebigambo ebiraga okwagala n’okusiima engeri ennungi omwami wange Darryl ze yalina. Buli emu ku zo erina ekirungi ky’emwogerako. Ndi mukakafu nti Yakuwa naye amujjukira era ajja kumuzuukiza.”

Omukyala ayitibwa Esther ow’emyaka ekinaana mu omunaana ayogera ku ekyo ekimuyambye. Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okufiirwa munnange gwe nnali mmaze naye emyaka 46, ekigezo kye nfunye ekisinzeeyo okuba eky’amaanyi kwe kubeera mu kiwuubaalo. Naye nkizudde nti okusigala nga nneenyigira mu bintu eby’omwoyo, kinnyambye nnyo. Ssirekedde awo kugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, okusoma Baibuli n’okubuulirako abalala obubaka obugirimu. Obuteeyawula ku balala nakyo kinnyambye nnyo. Ntera okubeerako awamu ne mikwano gyange abampuliriza. Si buli kiseera nti baba balina ebigambo eby’okumbudaabuda, naye nsiima nnyo olw’okuba banfissizaawo akadde ne bampuliriza.”

Obulwadde bwa kookolo bwatta mukyala wa Robert, gwe yali amaze naye emyaka 48 mu bufumbo. Agamba nti: “Si kyangu okugumira ekizibu ky’okufiirwa munno gw’obadde oyogera naye, oteesa naye, otambulako naye era nga muwummulirako wamu. Tekibadde kyangu, naye ndi mumalirivu obutalekulira wabula okutwala obulamu bwange mu maaso. Okubaako ne bye nkola kinnyambye nnyo. Okusaba nakwo kumbudaabuda nnyo.”

Obulamu obw’Amakulu Oluvannyuma lw’Okufiirwa

Wadde ng’okufiirwa munno mu bufumbo kye kimu ku bintu ebisinga okwennyamiza, si y’eba enkomerero. Bw’olowooza ku bintu ebirungi, kiyinza okukusobozesa okukola ebyo bye wali totera kukola nnyo, gamba ng’ebintu ebikunyumira oba okutambulako. Bino bisobola okukumalako ekiwuubaalo. Abamu, bayinza okukozesa ekiseera ekyo okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza obw’Ekikristaayo. Essanyu n’obumativu ebiva mu kuyamba abalala mu ngeri eno baba babifuna kubanga Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Ebikolwa 20:35.

Tolowooza nti toyinza kuddamu kuba musanyufu. Ba mukakafu nti Yakuwa Katonda akufaako bw’odda gy’ali. Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba nti: ‘Yakuwa awanirira nnamwandu.’ (Zabbuli 146:9) Tubudaabudibwa bwe tumanya nti Baibuli tekoma ku kwogera ku Yakuwa nga “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna” naye era emwogerako bw’eti: “Oyanjuluza engalo zo, n’okussa buli kintu ekiramu bye kyagala.” (2 Abakkolinso 1:3; Zabbuli 145:16) Mu butuufu, Yakuwa Katonda ow’okwagala, alina obusobozi, ayagala, era mwetegefu okuyamba abo bonna abamunoonya okubawa obuyambi. Ka enneewulira yo ebeere ng’ey’Abaisiraeri ab’edda, abaayimba nti: “Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa? Okubeerwa kwange kuva eri Mukama , Eyakola eggulu n’ensi.”​—Zabbuli 121:1, 2.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]

Obukadde n’obukadde bw’abantu bafunye ennaku n’ekiwuubaalo olw’okufiirwa bannaabwe mu bufumbo. Naawe oli omu ku bo?

[Akasanduuko akali ku lupapula 32]

Ate Okuddamu Okuyingira Obufumbo?

Baibuli eraga nti omu ku bafumbo bw’afa, obufumbo buba bukomye, n’olwekyo oyo asigaddewo aba wa ddembe okuddamu okuyingira obufumbo. (1 Abakkolinso 7:39) Kino aba alina okukyesalirawo ye kennyini. Kyokka, kikulu abaana okumanya muzadde waabwe ky’asazeewo era ne bamuwagira bwe kiba kisoboka. (Abafiripi 2:4) Ng’ekyokulabirako, mu kusooka Andrés yali tayagala kitaawe addemu kuwasa. Yali ayagala nnyo maama we ne kiba nti yali tayagala muntu yenna kudda mu kifo kye. Agamba nti: “Naye nga waakayita ekiseera kitono nnakitegeera nti taata wange yali asazeewo bulungi. Obufumbo bw’amuzzaamu amaanyi. Yatandika okukola ebintu bye yali amaze ekiseera nga takola, gamba ng’okutambula olugendo. Mu butuufu nsiima nnyo mukyala we omupya olw’okumulabirira obulungi mu by’omubiri ne mu nneewulira.”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Okubeera n’eby’okukola ebingi n’okusaba Katonda akuyambe osobole okugumiikiriza, kijja kukuyamba okutereera obulungi