Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Olutalo Olwakyusa Ensi

Olutalo Olwakyusa Ensi

Ekyasa kimu emabega, abavubuka bukadde na bukadde baagenda mu lutalo. Baali beesunga okulwana olutalo olwo olw’okuba baalina mwoyo gwa ggwanga. Mu 1914, omujaasi omu Omumerika eyali nnakyewa yawandiika nti: “Ndi musanyufu nnyo era nneesunga okugenda mu lutalo luno.”

Naye mu kiseera kitono, essanyu lyabwe lyafuuka nnaku. Tewali yali alowooza nti amagye ago ag’amaanyi gandimaze emyaka mingi nga galwanira mu Bubirigi ne mu Bufalansa. Olutalo olwo lumanyiddwa nga ssematalo eyasooka.

Ssematalo eyasooka yafiiramu abantu bangi nnyo. Kiteeberezebwa nti abantu obukadde nga 10 be baalufiiramu, ate abantu obukadde nga 20 baafuna ebisago eby’amaanyi. Abakulembeze b’amawanga ga Bulaaya baalemererwa okugonjoola ebizibu ebyaviirako olutalo olwo. N’okusingira ddala, olutalo olwo lwakosa nnyo ensi. Lwakyusa ensi ne kiba nti n’okutuusa leero tukyayolekagana n’ebizibu ebyava mu lutalo olwo.

ENSOBI EZAAVIIRAKO OLUTALO

Olutalo olwo lwava ku nsobi ez’amaanyi ezaakolebwa abakulembeze b’amawanga ga Bulaaya. Ekitabo ekiyitibwa The Fall of the DynastiesThe Collapse of the Old Order 1905-1922 kigamba nti abakulembeze abo ‘baali tebamanyi nti bye baali basalawo byandivuddemu olutalo olw’ensi yonna.’

Nga wayiseewo wiiki ntono nnyo oluvannyuma lw’okutemula omulangira wa Austria, amawanga mangi mu Bulaaya gaatandika okulwana olutalo lwe gaali gateetegekedde. Nga waakayita ennaku ntono, omukulembeze wa Bugirimaani yabuuzibwa nti: “Olutalo luvudde ku ki?” Nga yenna munakuwavu, yaddamu nti: “Kale singa twamanya.”

Abakulembeze b’amawanga abaasalawo obubi baali tebamanyi byandivudde mu lutalo olwo. Naye abajaasi abaali mu lutalo baakiraba nti abakulembeze baabwe ab’amawanga baabawaayo battibwe, abakulembeze baabwe ab’amadiini baabalimba, era nti abaduumizi baabwe baabalyamu olukwe. Mu ngeri ki?

Abakulembeze baabwe ab’amawanga baabawaayo battibwe, abakulembeze baabwe ab’amadiini baabalimba, era abaduumizi baabwe baabalyamu olukwe

Abakulembeze b’amawanga baasuubiza nti olutalo olwo lwali lugenda kuleetawo enkyukakyuka ennungi ku nsi. Omukulembeze wa Bugirimaani yagamba nti: ‘Tulwana okukuuma ebintu byaffe, obuwangwa n’ennono bajjajjaffe bye baalwanirira, n’okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.’ Pulezidenti wa Amerika Woodrow Wilson yagamba nti olutalo olwo lwali lugenda “kusobozesa ensi okubaamu enfuga eya demokulasiya.” Ate mu Bungereza abantu baali balowooza nti “olutalo olwo lwe lwali lugenda okukomya entalo zonna.” Naye ebyo byonna tebyatuukirira.

Abakulembeze b’amadiini baawagira nnyo olutalo olwo. Ekitabo ekiyitibwa The Columbia History of the World kigamba nti: “Abakulembeze b’amadiini abandibadde bayigiriza abantu Bayibuli ate be baabakubiriza okugenda mu lutalo. Olutalo olwo lwaleetawo obukyayi obw’amaanyi wakati w’amawanga.” Ate era abakulembeze b’amadiini baasiga obukyayi mu bantu mu kifo ky’okubakubiriza okwagalana. Ekitabo ekirala ekiyitibwa A History of Christianity kigamba nti: “Abakulembeze b’amadiini baatumbula mwoyo gwa ggwanga mu kifo ky’okunywerera ku ebyo Bayibuli by’egamba. Abajaasi ab’enzikiriza ez’enjawulo ez’Ekikristaayo baakubirizibwa okuttiŋŋana mu linnya ly’Omulokozi waabwe.”

Abaduumizi b’amagye baagamba abajaasi baabwe nti olutalo olwo baali ba kuluwangula mu bbanga ttono nnyo. Naye okwo tekwali kumenya mu jjenje kkalu nga bwe baali balowooza, kubanga abo be baali balwanagana nabo baali ba maanyi nnyo. Abajaasi bukadde na bukadde battibwa, era munnabyafaayo omu yagamba nti olutalo olwo “lwe lukyasinze okulumya n’okweraliikiriza abantu.” Wadde ng’abajaasi bangi nnyo baali bafa, abaduumizi b’amagye beeyongeranga kuduumira bajaasi baabwe okulwana. Tekyewuunyisa nti abajaasi bangi baatuuka n’okujeemera abaduumizi baabwe.

Ssematalo eyasooka yakosa atya abantu? Omu ku baazirwanako yagamba nti: “Olutalo olwo . . . lwayonoona endowooza n’empisa z’abantu ab’omulembe ogwo.” Mu butuufu, olutalo olwo lwayawulayawula mu mawanga agatali gamu. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, wazze wabaawo entalo ez’amaanyi nnyingi era ng’ekyasa ekyo kye kikyasinze okubaamu okuyiwa omusaayi. Okuviira ddala mu kiseera ekyo, wazze wabaawo obwegugungo.

Lwaki olutalo olwo lwakyusa nnyo ensi? Lwaki lwali lwa njawulo ku ntalo endala zonna? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bisobola okutuyamba okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?