Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Lwaki abantu bakola ebintu ebibi?

Ani eyakema yesu okukola ebintu ebibi?Matayo 4:8-10

Abantu baagala okuba ab’emirembe, abeesigwa, era ab’ekisa. Naye lwaki waliwo obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’ebikolwa eby’obukambwe? Ebiseera ebisinga amawulire gabaamu ebintu eby’entiisa. Waliwo aleetera abantu okukola ebintu ebyo ebibi?Soma 1 Yokaana 5:19.

Katonda yatonda abantu bakole ebintu ebibi? Nedda, Yakuwa Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye, nga basobola okwoleka okwagala kwe. (Olubereberye 1:27; Yobu 34:10) Wadde kiri kityo, Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo. Bazadde baffe abaasooka bwe baagaana okukoppa Yakuwa. Baajeema era ne baafuuka abatatuukiridde. Naffe twonoona olw’okuba twasikira ekibi okuva ku bo.Soma Ekyamateeka 32:4, 5.

Ebintu ebibi biriggwaawo?

Katonda ayagala twewale okukola ebintu ebibi. (Engero 27:11) Atuyigiriza engeri gye tuyinza okubyewalamu n’engeri gye tuyinza okufuna essanyu erya nnamaddala. Kyokka, mu kiseera kino tetusobola kwoleka kwagala kwa Katonda mu bujjuvu.Soma Zabbuli 32:8.

Wadde nga leero waliwo ebikolwa ebibi bingi, Katonda alese bibeewo okumala akaseera katono buli omu asobole okulaba ebintu ebibi ebiva mu bujeemu. (2 Peetero 3:7-9) Wadde kiri kityo, mu kiseera ekitali kya wala ensi ejja kubeerako abantu abasanyufu era abagondera Katonda.Soma Zabbuli 37:9-11.