Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ani Asaanidde Okuyigiriza Abaana Ebikwata ku Katonda?

Ani Asaanidde Okuyigiriza Abaana Ebikwata ku Katonda?

Ani Asaanidde Okuyigiriza Abaana Ebikwata ku Katonda?

“Omuyizi tasinga amuyigiriza, naye buli ayigirizibwa obulungi aliba ng’oyo amuyigiriza.”​—LUKKA 6:40.

ABAZADDE abamu muli bawulira nti tebalina bisaanyizo bya kuyigiriza baana baabwe bikwata ku Katonda. Bayinza okulowooza nti tebalina buyigirize bumala oba nti bye bamanyi ku ddiini bitono nnyo ekitabasobozesa kuba bayigiriza balungi. N’ekivaamu, obuvunaanyizibwa buno obukulu ennyo bayinza okubulekera omu ku b’eŋŋanda zaabwe oba omukulembeze w’eddiini.

Naye, ani ddala asaanidde okuyigiriza abaana amazima agakwata ku Katonda n’emisingi gy’empisa? Lowooza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno, era okigeraageranye n’ebyo abeekenneenya bye bazudde.

Taata Alina Buvunaanyizibwa Ki?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: ‘Bataata temunyiizanga baana bammwe, naye mubakuze mu kutendekebwa ne mu kuyigiriza kwa Mukama.’​—Abeefeso 6:4, “Holman Christian Standard Bible.”

Abeekenneenya bye bazudde: Bataata baganyulwa batya bwe banyiikirira eddiini? Ekitundu ekyafulumizibwa aba Ball State University mu 2009 kyagamba nti: ‘okwenyigira mu by’eddiini kiyinza okuyamba abasajja okufuuka bataata abalungi. Eddiini esobozesa abo abagirimu okuganyulwa mu kukolaganira awamu era bayigirizibwa engeri gye basaanidde okutambuzaamu obulamu bwabwe.’ (Fathers’ Religious Involvement and Early Childhood Behavior)

Bayibuli eyigiriza nti kikulu nnyo bataata okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukuza n’okutendeka abaana. (Engero 4:1; Abakkolosaayi 3:21; Abebbulaniya 12:9) Naye okubuulirira okwo kwa muganyulo leero? Mu 2009, Etendekero Ekkulu ery’omu ssaza lya Florida lyafulumya ekitundu ekyali kyogera ku ngeri ebyo bataata bye bakola gye bikwata ku baana baabwe. Abeekenneenya baakizuula nti abaana abaakuzibwa bataata abaafaayo ennyo, batera okuba ab’ekisa era baba bawulira nti ba mugaso. Kyazuulibwa nti abaana abalenzi abafiibwako ennyo tebatera kweyisa bubi, ate bo abawala tebatera kweraliikirira nnyo. Tewali kubuusabuusa nti amagezi Bayibuli g’ewa ku nsonga eyo gakyali ga muganyulo.

Obuvunaanyizibwa bwa Maama Bukulu Kwenkana Wa?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Tova mu teeka lya nnyoko.”​—Engero 1:8.

Abeekenneenya bye bazudde: Mu 2006 akatabo akayitibwa Handbook of Child Psychology kaalaga nti bamaama bamala ebiseera bingi nnyo n’abaana baabwe bw’obigeraageranya n’ebyo bataata bye bamala nabo, era nga bwe kityo bwe kiri mu nsi nnyingi. Olw’okuba bamaama bamala ebiseera bingi nga bali n’abaana baabwe, enjogera yaabwe, ebikolwa byabwe, awamu n’endowooza zaabwe birina kinene nnyo kye bikola ku kukula kw’abaana baabwe.

Maama ne taata bwe bakolera awamu okuyigiriza abaana baabwe amazima agakwata ku Katonda, baba babawadde ebirabo bibiri eby’omuwendo. Ekisooka, abaana kibasobozesa okufuna enkolagana ne Kitaabwe ow’omu ggulu, enkolagana esobola okubaganyula obulamu bwabwe bwonna. Ekyokubiri, ekyokulabirako ky’abazadde kiyigiriza abaana engeri omwami n’omukyala gye basaanidde okukolaganira awamu okusobola okutuuka ku biruubirirwa byabwe ebikulu. (Abakkolosaayi 3:18-20) Wadde ng’abalala baba basobola okuyambako taata ne maama, buvunaanyizibwa bw’abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda n’engeri Katonda gy’ayagala amaka gaddukanyizibwemu.

Naye, abazadde basaanidde kuyigiriza batya abaana baabwe? Ngeri ki ez’okuyigiriza eziyinza okukola obulungi?