Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri y’Okuziyizaamu Ebikemo

Engeri y’Okuziyizaamu Ebikemo

Eri Abavubuka Baffe

Engeri y’Okuziyizaamu Ebikemo

YUSUFU​—EKITUNDU 1

Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.

Abasinga okwogerwako: Yusufu ne muka Potifaali

Mu bufunze: Yusufu aziyiza ekikemo eky’okwetaba ne muka Potifaali.

1 WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA OLUBEREBERYE 39:1-12.

Bw’okuba akafaananyi, olowooza ennyumba ya Potifaali yali efaanana etya era nga yenkana etya.

․․․․․

Olowooza Yusufu yali afaanana atya? (Ddamu osome olunyiriri 6.)

․․․․․

Olowooza eddoboozi lya Yusufu lyali lyoleka nneewulira ki bwe yali ayogera ne muka Potifaali mu lunyiriri 8 ne 9?

․․․․․

2 NOONYEREZA.

Kiki ekiyinza okuba nga kye kyandireetedde Yusufu okugwa mu kikemo? (Soma Abafiripi 2:12, era olowooze ku mbeera Yusufu gye yalimu. Okugeza, ab’omu maka ga Yusufu n’abantu abalala abaasinzanga Yakuwa baali ludda wa mu kiseera ekyo?)

․․․․․

Olowooza lwaki Yusufu muli yali awulira nti okwenyigira mu bwenzi yandibadde ayonoonye eri Katonda kyokka ng’ate mu kiseera ekyo Katonda yali tannassaawo tteeka likwata ku bwenzi? (Soma era ofumiitirize ku byawandiikibwa bino: Olubereberye 2:24; 12:17, 18; Abaruumi 2:14, 15; ne Abebbulaniya 5:14.)

․․․․․

3 SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA KU . . .

Kakwate akaliwo wakati w’okwefuga n’okuwa abalala ekitiibwa.

․․․․․

Miganyulo abo abagoberera emitindo gya Katonda egy’empisa gye bafuna.

․․․․․

Bwetaavu bw’okutendeka ‘obusobozi bwo obw’okutegeera.’ (Abebbulaniya 5:14)

․․․․․

EBIRALA BY’ONOSSA MU NKOLA.

Mbeera ki ez’obulamu mwe weetaagira okuba omumalirivu okuziyiza ekikemo eky’okwetaba? (Soma era ofumiitirize ku Yobu 31:1; Zabbuli 119:37; Abeefeso 5:3, 4.)

․․․․․

4 MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?

․․․․․

Bw’oba tolina bayibuli, gisomere ku mukutu www.watchtower.org