Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mu Kisiikirize ky’Olusozi olw’Omuliro

Mu Kisiikirize ky’Olusozi olw’Omuliro

Ebbaluwa Okuva e Congo (Kinshasa)

Mu Kisiikirize ky’Olusozi olw’Omuliro

NG’ENJUBA evaayo era ng’eyaka ku kibuga Goma, ebire bifuuka bya pinki ne kacungwa. Buli ku makya amaaso gaffe gatuukira ku lusozi olulabika obulungi oluyitibwa Nyiragongo, olumu ku nsozi ezisinga okuwanda omuliro mu nsi yonna. Omukka omungi ogutakoma gulabibwa nga guva mu lusozi luno. Ekiro, omukka ogwo gufuuka mumyufu ekiraga nti mu lusozi olwo mulimu olunyata.

Mu Luswayiri, olusozi olwo luyitibwa Mulima ya Moto, ekitegeeza, Olusozi olw’Omuliro. Okuwanda omuliro okw’amaanyi ennyo okwasembayo okw’olusozi luno Nyiragongo kwaliwo mu 2002. Bangi ku baliraanwa baffe ne mikwano gyaffe wano mu Goma, baafiirwa ebintu byabwe byonna. Nze n’omwami wange bwe tuba tubuulira mu bitundu ebiriraanyewo, tutambulira ku byaziyazi eby’olunyata olwakala, era nga bye bintu ebitasangikasangika. Abantu si bakakanyavu ng’ebyaziyazi ebyo. Basanyufu, balina emitima emigonvu era bawuliriza amawulire amalungi ge tubabuulira. Eno y’ensonga lwaki okuweerereza mu kisiikirize ky’Olusozi olw’Omuliro kituleetera essanyu lingi.

Ku Lwomukaaga ku makya, nzuukuka nga nnina kye nneesunga. Nze n’omwami wange, mikwano gyaffe abatukyaliddeko, awamu ne baminsani bannaffe, tugenda kumala lunaku lulamba nga tubuulira mu nkambi y’ababundabunda eri mu kitundu ekiyitibwa Mugunga, ekiri ku njegoyego z’ekibuga ku luuyi olw’ebugwanjuba. Abantu bangi abali mu kitundu kino badduka mu bibuga byabwe olw’entalo.

Tutikka emmotoka ya kabangali ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebiri mu Lufalansa, Oluswayiri, n’Olunyarwanda. Oluvannyuma, tutandika olugendo lwaffe. Nga tuli mu luguudo lw’e Route Sake omuli ebinnya ebingi, tutandika okulaba obulungi ekibuga. Abavubuka baatandise dda okusindika ebigaali ebiyitibwa chukudus ebiriko emigugu emizito ennyo (byakolebwa mu mbaawo era bikozesebwa mu kusitula emigugu). Abakyala abambadde sikaati ezimasamasa batambulira ku mabbali g’ekkubo nga beetisse emigugu eminene. Takisi ziri mu kusaabaza bantu abagenda ku mirimu gyabwe n’abagenda mu katale. Ekitundu kijjuddeko ennyumba ezaazimbibwa mu mbaawo ezitoneddwatoneddwa ne langi eya kitaka n’enzirugavu era nga ziriko ebikuubo ebya langi eya bululu.

Tutuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu ekiyitibwa Ndosho okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa abalala be tugenda okubuulira nabo mu nkambi. Nkwatibwako nnyo nga ndabye abato, ba nnamwandu, ba mulekwa, n’abo abalina obulemu ku mibiri gyabwe. Bangi ku bo bayise mu kubonaabona okw’amaanyi naye embeera y’obulamu bwabwe egenze erongooka olw’okugoberera emisingi gya Bayibuli. Basanyufu nnyo olw’essuubi lya Bayibuli lye balina, era baagala nnyo okulibuulirako abalala. Oluvannyuma lw’okuba n’olukuŋŋaana mwe tufunira amagezi agakwata ku byawandiikibwa ebiyinza okuzzaamu amaanyi abantu be tunaasanga, abantu 130 tugendera mu bbaasi entono ttaano n’emmotoka eya kabangali.

Nga wayise eddakiika nga 30, tutuuka mu nkambi. Ebikumi n’ebikumi bya weema enjeru zisimbiddwa mu kifo ekinene ekirimu ebyaziyazi eby’olunyata olwakala. Wakati mu nkambi mulimu zi kabuyonjo eza lukale ezirabika obulungi n’ebifo we booleza engoye. Abantu bali buli wamu​—abooza, abafumba, abasusa ebijanjaalo, n’abeera empya za weema zaabwe.

Tusisinkana omwami ayitibwa Papa Jacques akulira ekitundu ekimu eky’enkambi. Mweraliikirivu ku ngeri y’okukuzaamu abaana be mu biseera bino ebizibu. Yasanyuka nnyo bwe twamulekera akatabo akayitibwa Questions Young People Ask​—Answers That Work era n’agamba nti yandyagadde okukasoma, oluvannyuma akuŋŋaanye ebibinja by’abantu ababuulireko by’ayiga.

Nga tweyongeddeyo mu maaso, tusisinkana omukyala ayitibwa Mama Beatrice. Atubuuza ensonga lwaki Katonda aleka okubonaabona okubaawo. Alowooza nti Katonda ateekwa okuba ng’amubonereza. Omwami we yafiira mu lutalo, muwala we maama ali obwannamunigina era ng’ayita mu buzibu bwa maanyi okukuliza omwana we mu nkambi, ne mutabani we yawambibwa emyezi mitono emabega era nga kati tamanyi mayitire ge.

Mama Beatrice by’atubuulira bindeetera okulowooza ku ngeri Yobu gy’ayinza okuba nga yawuliramu oluvannyuma lw’okufuna amawulire amabi ennyo. Tumulaga ensonga lwaki waliwo okubonaabona era tumukakasa nti okubonaabona kwe si kibonerezo okuva eri Katonda. (Yobu 34:10-12; Yakobo 1:14, 15) Ate era, tumulaga enkyukakyuka Katonda z’anaatera okuleeta ku nsi ng’ayitira mu Bwakabaka bwe. Atandika okufuna akamwenyumwenyu, era agamba nti mumalirivu okweyongera okuyiga Bayibuli n’okusaba Katonda amuyambe.

Ffenna nga bwe twazze tunyumiddwa nnyo olunaku luno era muli tuwulira nti ddala Yakuwa atuyambye okuzzaamu abantu be tusanze amaanyi n’okubawa essuubi. Nga tuva mu nkambi, abantu bangi bawanika tulakiti, magazini, n’ebitabo bye tubawadde nga bwe batusiibula.

Ekiseera eky’okuddayo eka nkikozesa okufumiitiriza. Nnina essanyu lingi olw’okuba n’olunaku olulungi bwe lutyo. Nzijukira okusiima Papa Jacques kw’alaze, obuweerero Mama Beatrice bw’afunye, engeri omukyala omukadde abadde n’akamwenyumwenyu ku matama gy’annamusizzaamu n’ebbugumu ng’ankutte mu ngalo. Ndowooza ku bavubuka ababuuzizza ebibuuzo ebirungi ennyo bye mbadde sibasuubiramu. Nkwatiddwako nnyo olw’okulaba nti abantu abo bakyasobola okumwenya n’okuseka wadde nga bayita mu kubonaabona okutagambika.

Mu kitundu kino eky’ensi, tulaba abantu abalala bangi abafuba okuyamba abo ababonaabona okufuna obuweerero. Leero, ebadde nkizo ya maanyi nnyo okukozesa Bayibuli okulaga abantu ekyo ekinaagoonjoolera ddala ebizibu byabwe byonna. Muli mpulira nga ndi musanyufu nnyo olw’okuba ndi omu kw’abo abeenyigira mu kaweefube asingirayo ddala ow’okuyamba abantu okufuna obuweerero mu by’omwoyo.