Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 2 2018 | Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu

Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu

Tuwulira ebintu bingi ebiviirako amaka okusasika. Naye biki ebiviirako amaka okuba amanywevu?

  • Wakati wa 1990 ne 2015, omuwendo gw’abafumbo abasussa emyaka 50 abaagattululwa gwakubisaamu emirundi ebiri, ate ogw’abo abasussa emyaka 65 gwakubisaamu emirundi esatu.

  • Abazadde basobeddwa: Abawi b’amagezi abamu bagamba nti abazadde basaanidde okutendereza abaana buli kiseera, ate abalala bagamba nti basaanidde kubakwasa mukono gwa kyuma.

  • Abavubuka bayingira emyaka egy’obukulu nga tebalina kye bamanyi kiyinza kubayamba mu bulamu.

Wadde kiri kityo . . .

  • Obufumbo busobola okubaamu essanyu era busobola okuba obunywevu.

  • Abazadde basobola okuyiga engeri y’okukangavvulamu abaana baabwe mu kwagala.

  • Abavubuka basobola okuyiga ebintu ebinaabayamba nga bakuze.

Ekyo kisoboka kitya? Magazini eno eya Zuukuka! eraga ebintu 12 ebisobozesa amaka okuba amanywevu.

 

1: Obumalirivu

Waliwo ebintu bisatu ebisobola okuyamba abafumbo buli omu okunywerera ku munne.

2: Okukolera Awamu

Omwami wo oba mukyala wo alinga omuntu gwe mubeera naye mu nju y’emu naye nga temuli bafumbo?

3: Okuwaŋŋana Ekitiibwa

Laba ebimu ku bigambo n’ebikolwa ebisobola okulaga nti ggwe ne munno mu bufumbo muwaŋŋana ekitiibwa.

4: Okusonyiwagana

Kiki ekisobola okukuyamba okubuusa amaaso ensobi za munno mu bufumbo?

5: Empuliziganya

Ebintu bisatu ebisobola okukuyamba okunyweza enkolagana yo n’abaana bo.

6: Okukangavvula

Okukangavvula abaana kibaleetera okwenyooma?

7: Empisa

Mpisa ki z’olina okuyigiriza abaana bo?

8: Ekyokulabirako

Bw’oba oyagala abaana bakolere ku bigambo byo, olina okukolera ku ebyo by’oyogera.

9: Ekyo ky’Oli

Abavubuka bayinza batya okunywerera ku ebyo bye bakkiririzaamu?

10: Okuba Omuntu Eyeesigika

Bw’ogenda okula kikulu okufuba okulaba nti bazadde bo bakwesiga.

11: Okuba Omukozi Omunyiikivu

Bw’oyiga okuba omukozi omunyiikivu ng’okyali muvubuka kikuganyula nnyo mu bulamu.

12: Ebiruubirirwa

Okutuuka ku biruubirirwa byo kikuyamba okwekkiririzaamu, okufuna emikwano, era kikuleetera essanyu.

Amagezi Amalala Agayamba Amaka

Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba okuba n’amaka amanywevu.