Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusonyiwagana kumalawo obutakkaanya ng’amazzi bwe gazikiza omuliro

ABAFUMBO

4: Okusonyiwagana

4: Okusonyiwagana

KYE KITEGEEZA

Okusonyiwa kitegeeza okuva ku nsonga ebadde ekunyiizizza, era n’oba nga tokyasibye kiruyi. Okusonyiwa tekitegeeza nti ekikyamu ekiba kikoleddwa tokitwala nti kibi, era tekitegeeza kwefuula ng’atalabye kikyamu kikoleddwa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.”​—Abakkolosaayi 3:13.

“Bw’oba ng’oyagala omuntu, obuusa amaaso obutali butuukirivu bwe, ebirowoozo n’obissa ku ekyo ky’afuba okubeera.”​—Aaron.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Okusiba ekiruyi kikosa omubiri gwo n’enneewulira yo, era kikosa obufumbo bwo.

“Lumu omwami wange yanneetondera olw’ekintu kye yakola ekyannyiiza ennyo. Kyokka kyanzibuwalira okumusonyiwa. Oluvannyuma nnamusonyiwa naye nnejjusa ensonga lwaki nnalwawo okumusonyiwa, kubanga kyakosa enkolagana yaffe, ate ng’ekyo twandisobodde okukyewala.”​—Julia.

KY’OYINZA OKUKOLA

WEEKEBERE

Munno mu bufumbo lw’anaddamu okwogera oba okukola ekintu ekikuluma weebuuze:

  • ‘N’obuntu obutaliimu bunnyiiza?’

  • ‘Ky’ankoze kya maanyi nnyo ne kiba nti kimwetaagisa okunneetondera, oba nsobola okukibuusa amaaso?’

KUBAGANYA EBIROWOOZO N’OMWAMI WO OBA NE MUKYALA WO KU BIBUUZO BINO

  • Kitera kututwalira bbanga lyenkana wa okusonyiwagana?

  • Biki bye tuyinza okukola okusobola okusonyiwagana amangu?

AMAGEZI

  • Munno bw’akunyiiza tokitwala nti akigenderedde okukunyiiza.

  • Fuba okusonyiwa munno ng’okijjukira nti “emirundi mingi ffenna tusobya.”​—Yakobo 3:2.

“Kiba kyangu okusonyiwagana bwe kiba nti buli omu ali mu nsobi naye bwe kiba nti omu yekka y’ali mu nsobi, tekiba kyangu kumusonyiwa. Kyetaagisa obwetoowaze omuntu okusonyiwa munne ng’amwetondedde.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Tabagananga mangu.”​—Matayo 5:25.

Okusiba ekiruyi kikosa omubiri gwo n’enneewulira yo, era kikosa obufumbo bwo