Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyiga okukola n’obunyiikivu kiringa okukola dduyiro; kikuganyula mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso

ABAANA

11: Okuba Omukozi Omunyiikivu

11: Okuba Omukozi Omunyiikivu

KYE KITEGEEZA

Abantu abakozi tebeeganya mirimu. Mu kifo ky’ekyo, bakola n’amaanyi okusobola okwetuusaako bye beetaaga n’okuyamba abalala, ne bwe kiba nti omulimu gwe bakola gwa wansi.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Ekituufu kiri nti mu bulamu tuba n’obuvunaanyizibwa bungi. Mu nsi ya leero omuli abantu abangi abataagala kukola na maanyi, bw’oba omukozi omunyiikivu kikuganyula nnyo.​—Omubuulizi 3:13.

“Nkirabye nti okukola n’obunyiikivu kireeta essanyu lingi era kireetera omuntu okuwulira nti mumativu. Essanyu lye nfuna mu kukola lindeetedde okwagala ennyo okukola. Okuba omukozi omunyiikivu kikuleetera okuba n’erinnya eddungi.”​—Reyon.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi.”​—Engero 14:23.

KY’OYINZA OKUKOLA

Ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mirimu.

Kola omulimu n’omutima gwo gwonna. K’obe ng’okola mirimu gya waka, ebyo ebikuweereddwa ku ssomero, oba oba ng’okola omulimu ogukuyimirizaawo, gukole n’omutima gwo gwonna. Ne bw’oba ng’okola bulungi omulimu gwo, noonya engeri gy’oyinza okwongera okulongoosa mu ngeri gy’ogukolamu, gamba ng’okwongera ku sipiidi gy’ogukoleramu oba okwongera ku mutindo gw’ekyo ky’okola. Gy’okoma okukuguka mu mulimu gwo, gy’okoma okugunyumirwa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Olabye omusajja eyakuguka mu mulimu gwe? Ajja kuyimirira mu maaso ga bakabaka; tajja kuyimirira mu maaso g’abantu aba bulijjo.”​—Engero 22:29.

Lowooza ku ngeri gye kiganyulamu abalala. Bw’okola obulungi omulimu gwo, kiganyula n’abalala. Ng’ekyokulabirako, bw’okola emirimu gy’awaka n’obunyiikivu, kiwewula ku balala mu maka.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Ebikolwa 20:35.

Kola ekisinga ku ekyo ky’olina okukola. Mu kifo ky’okukola ekyo kyokka ekikusuubirwamu, oluusi n’oluusi kola ekisinga ku ekyo ekikulagiddwa. Bw’okola bw’otyo, buli kiseera toba awo nga bakulagira bulagizi eky’okukola. Okola ebintu olw’okuba oyagala so si lw’okuba oteekeddwa okubikola.​—Matayo 5:41.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Ekintu ekirungi tokikola lwa kuwalirizibwa, naye lwa kwagala.’​—Firemooni 14.

Togwa lubege. Abantu abakozi tebaba bagayaavu, kyokka era buli kiseera tebaba nga bakola. Tebagwa lubege; bakola nnyo naye era bafuna akadde okuwummula.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”​—Omubuulizi 4:6.