Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okugondera bazadde bo kiringa okusasula ebbanja mu bbanka. Gy’okoma okukiraga nti weesigika gye bajja okukoma okukwesiga

ABAANA

10: Okuba Omuntu Eyeesigika

10: Okuba Omuntu Eyeesigika

KYE KITEGEEZA

Abantu abeesigika, bazadde baabwe, mikwano gyabwe, ne bakozi bannaabwe baba babeesiga. Bagondera amateeka, batuukiriza bye basuubiza, era bulijjo boogera amazima.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Emirundi mingi eddembe abalala lye bakuwa lisinziira nnyo ku kuba nti weesigika.

“Bazadde bo okusobola okukwesiga olina okukyoleka nti oli mukulu mu birowoozo era nti oli wa buvunaanyizibwa, si olwo lwokka ng’oli nabo wabula ne bw’oba nga toli nabo.”​—Sarahi.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.”​—2 Abakkolinso 13:5.

KY’OYINZA OKUKOLA

Ka kibe nti oyagala abalala beeyongere okukwesiga oba baddemu okukwesiga, weetaaga okukola ebintu bino wammanga.

Ba wa mazima. Ekimu ku bintu ebireetera abalala obutakwesiga kwe kulimba. Ku luuyi olulala, bw’oyogera amazima, naddala ng’okoze ensobi, abalala bakwesiga.

“Kyangu okwogera amazima ng’ebintu bitambula bulungi. Naye okwogera amazima ne mu bintu ebiyinza okukuswaza, kiviirako abalala okukwesiga.”​—Caiman.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Abebbulaniya 13:18.

Ba muntu eyeesigika. Okunoonyereza okumu okwakolebwa mu Amerika kwalaga nti, ekimu ku bintu ebisatu ebikulu amakampuni bye geetaaga mu bantu be gakozesa kwe kuba nti beesigika. Bw’oyiga okuba omuntu eyeesigika kati kijja kukuganyula ng’okuze.

“Bwe nkyoleka nti ndi wa buvunaanyizibwa era ne nkola emirimu awaka nga tebasoose kunnyimbirira, bazadde bange bakiraba. Gye nkoma okweyisa bwe ntyo gye bakoma okunneesiga.”​—Sarah.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ndi mukakafu nti ojja kukola kye nkusabye. . . . Nkimanyi nti ojja kukola n’ekisingawo ku bye ŋŋambye.”​—Firemooni 21.

Ba mugumiikiriza. Kyangu okulaba nti omwana akuze mu mibiri, naye si kyangu kulaba nti akuze mu birowoozo. N’olwekyo abaana balina okuba abagumiikiriza kubanga kitwala ekiseera abalala okukiraba nti bakuze mu birowoozo.

“Kitwala ekiseera bazadde bo n’abantu abalala okukwesiga. Tosuubira nti bajja kukwesiga olw’okuba okozeeyo ekintu kimu eky’obwesigwa. Olina okuba ng’omaze ekiseera ng’okyoleka nti weesigika.”​—Brandon.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mwambale . . . obugumiikiriza.”​—Abakkolosaayi 3:12.